
Bya Francis Ndugwa
Kakeeka – Mmengo
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga agguddewo olusirika lw’abakulembeze mu Bwakabaka, okukuba tooci mu byebalina, okukola okwongera okutumbula obuweereza mu ngeri y’okwewa Federo ey’ebikolwa olwo ey’amateeka wenaabasangira.
Olusirika luno Kamalabyonna aluguliddewo ku Ssettendekero wa Muteesa 1 Royal University e Mmengo ku Mmande nga lugenda kumala ennaku bbiri nnamba nga lukubirizibwa Sipiika Patrick Luwaga Mugumbule .
“Byetukyalina okukola byebisinga obungi awo nno ffenna tunywere tutuukirize obuvunaanyizibwa obwatukwasibwa. Omulamwa gw’olusirika luno mugulabye, ‘Tuseeseetuke tuve ku nteekateeka ez’omungumba tugende mu nteekateeka ez’omuggundu nga tunnyikiza Federo ey’ebikolwa,” Owek. Mayiga bw’annyonnyodde.

Bano abasabye okutwala eky’okulabirako kya James Mulwana eyagatta omutindo ku mata geyali afuna mu nte zaalunda nazikolamu ekkolero ly’amata nga asukka ku Pulogulaamu y’obusa, amata awamu n’okulima omuddo ogulimu ekiriisa natuuka okukola ebintu nga Yoghurt, Ice cream n’amasanyalaze okuva mu busa.
Owek. Mayiga agamba nti abakulembeze tebalina kukola bukozi mu ngeri y’okutuusa oluwalo naye bagikole mu nteekateeka ey’omuggundu gisobole okuvaamu ebibala ebinazza Buganda ku ntikko.
Ono era abakuutidde okubeera ekyokulabirako eri abantu babakulembera, nÓkwettanira enkola zonna eziyamba mu kuggya abantu ba Kabaka mu bwavu, nga bayita mu buyiiya n’obuteenyoomera mu buweereza bwa Beene.
Katikkiro asabye abakulembeze obutawaliira na bintu binene, wabula batandike nébitonotono ebiriwo, oluvannyuma bigeggye.
Agasseeko okubasaba okubeera mu bantu , okulondoola emirimu gyábantu ba Kabaka n’okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe mu yafeesi, ate n’okuzikuuma nga zinyirira era nga ziweesa Obwakabaka ekitiibwa.

Ye Omumyuka Asooka owa Katikkiro era Omuwanika, Owek Robert Wagwa Nsibirwa asabye abakulembeze okunnyonnyola abantu enteekateeka za Ssaabasajja ezenjawulo, okubawa ku magezi ku ngeri z’okulwanyisa Obwavu n’enteekateeka endala.
Omuwanika Owek. Robert Waggwa Nsibirwa, agambye nti emyaka 10 emabega emirimu bagyesigamya ku pulojekiti kubanga ebintu byali tebinannyikira, enteekateeka mu byensimbi yali nzibu nnyo nga kizibu okukola enteekateeka ez’omugundu.
Olusirika luno lwetabiddwamu abakulembeze ab’enjawulo omuli Baminisita, bammemba b’Olukiiko, Abataka ab’Obusolya, Abakulira ebitongole n’Abaweereza ku mitendera emirala.









