• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Katikkiro Mayiga aguddewo Olusirika lw’ abakulembeze ba BLB, abasabye okunyweza obuyiiya

Gambuuze by Gambuuze
October 4, 2024
in Amawulire
0 0
0
Katikkiro Mayiga aguddewo Olusirika lw’ abakulembeze ba BLB, abasabye okunyweza obuyiiya
0
SHARES
34
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Shafic Miiro

Butikkiro – Mmengo

Mukuumaddamula Charles Peter Mayiga aguddewo olusirika lw’abakulembeze mu kitongole kya Ssaabasajja Kabaka ki Buganda Land Board, naakuutira abakwatibwako mukitongole kino okunnyikiza obuyiiya kyongere okugenda mu maaso.

Entanda, Owek. Mayiga agibaweeredde mu Butikkiro e Mmengo ku Lwokutaano mu lusirika lw’abakulembeze ba Buganda Land Board nga luno lutegekeddwa n’ekigendererwa eky’okukubaganya ebirowoozo ku nzirunkanya y’emirimu n’okuteekateeka Nnamutayiika y’ekitongole kino ey’omwaka ogujja

” Mu mbeera zonna zetubeeramu twetaaga okubeera abayiiya mu nzirukanya y’emirmu. bw’otaba muyiiya buli kintu kibeera kikusomooza. Era omuntu bwabeera nga si muyiiya ebizibu byakulembeza, so omuntu omuyiiya agamba nti kino tekijja kukola kati katukole kino,” Kamalabyonna Mayiga bw’annyonnyodde.

Katikkiro Mayiga era abasabye okubeera abanyiikivu basobole okubaako byebagobolola era beetegeke okukoowa  okwongera ekitongole kino mu maaso. Abakuutidde ku nnono y’obwerufu era bakimanyi nti buli kimu kikolerwa ku mmeeza emirimu okusobola okutambula n’okunyweza obumu. Abakubirizza okukola n’okwagala emirimu gisobole okubanguyira.

Ono abalagidde bulijjo okukwanaganya emirimu mu bitongole ebyenjawulo eby’Obwakabaka era bakwatagane basobole okwewala okukuubagana  emirimu gisobole okutambula obulungi.

Katikkiro Mayiga annyonnyodde nti emyaka 30 ekitongole kino gyekimaze gimala nga kati kyetaaga okukola enteekateeka ezikisitula era bateeke omwoyo ku bintu ebyetaagisa mu mateeka  nga okusasula emisolo gya Gavumenti n’okulabirira abakozi abasookerwako mukitongole n’ abalala.

Mayiga agamba ekitongole kyonna okutambula obulungi, obukulembeze bulina okusiiga ekifaananyi ekirungi, okuyita mu ntambuza ey’emirimu esaanidde olwo abantu nebafuna n’obwesige mu bikolebwa.

Yeebazizza Abasigire Kabaka beyawaayo mukitongole kino, Bboodi wamu n’a baddukanya ekitongole kino olw’emrimu egikoleddwa mu lugendo lw’okuddamu okuzimba  Obwakabaka kubanga luno terubadde lwangu.

Olusirika luno lwetabiddwamu Omulangira David Kintu Wasajja, Omuyima w’ekitongole kino, abamyuka ba Katikkiro, Minisita w’Ettaka n’Ebizimbe Owek. Daudi Mpanga, abakiise ku lukiiko lwa bboodi n’abolukiiko oluvunaanyizibwa ku ntambuza y’emirimu mu kitongole.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist