
Bya Francis Ndugwa
Bulange – Mmengo
Katikkiro Charles Peter Mayiga akubirizza abazadde okufaayo ennyo ku Masomero gyebasindika abaana baabwe okusoma naddala singa baba tebayimiridde bulungi mu byensimbi.
Obubaka buno Kamalabyonna Mayiga abuweeredde mu Bulange e Mmengo bw’abadde aggulawo omwaka gw’Oluwalo ogwa 2024 ku Lwokubiri.
Owek. Mayiga akalaatidde gavumenti okuteeka ebikozesebwa ebituukana na mutindo mu masomero gaayo okusobola okutumbula ebyenjigiriza.
Mayiga akubirizza abazadde bonna okutwala abaana baabwe mu masomeo gebasobola mu byenfuna mu kifo ky’okubatwala mu masomero gebatasobola olw’ebisale byaago.
Katikiro era alaze obweraliikirivu olw’Omutindo gw’amasomero ga gavumenti oguserebye kyagamba nti kivudde ku masomero ga gavumenti obutabeeramu bikozesebwa.

Minisita wa Gavumenti Ez’ebitundu mu Gavumenti ya Ssaabasajja Kabaka, Owek Joseph kawuki alambuludde ku alipoota eraga eggombolola n’Amasaza engeri gyegaakolamu mu Luwalo omwaka oguwedde.
Bbo Abaami ba Ssaabasajja Kabaka abamulamulirako Amasaza n’Eggombolola ez’enjawulo boogedde byebagenda okuteekako essira omwaka guno 2024.
Era kitegeerekese nti Eggombolola ya Mutuba III Makindye yeeyasinga eggombolola endala zonna n’eddilirwa Kampala Masekati nga wano eggombolola n’Amasaza abakola obulungi baweereddwa engule.









