• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Katikkiro Mayiga agenyiwaddeko e Bunyoro, asabye amafuta geeyambisibwe nga gakyali ga bbeeyi

Gambuuze by Gambuuze
July 17, 2023
in Amawulire
0 0
0
Katikkiro Mayiga agenyiwaddeko e Bunyoro, asabye amafuta geeyambisibwe nga gakyali ga bbeeyi
0
SHARES
24
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Bunyoro        

Katikkiro Charles Peter Mayiga agenyiwaddeko e Bunyoro ewali omulimu gw’okusima amafuta naasaba bannayuganda okuguwagira kisobozese okugafunamu nga gakyali ga bbeeyi okusobola okugafunamu.

Bino Mukuumaddamula Mayiga abitegeezezza bannamawulire ku Mmande ku kitebe ky’Obukama bwa Bunyoro naalabula abogerera enteekateeka eno amafuukuule.

“Tuzze okuwagira enteekateeka  z’okusima amafuta kuba twagala okwelabirako n’amaaso gaffe. Amafuta bwekiba kya bugagga tukyeyambise nga kikyali kya bbeeyi. Abo aboogera nti tetusana kusima mafuta oba okuzimba omudumu bafaananako Omuganda kyagamba nti anaakuma enswa nti tolya omulalu,” Owek. Mayiga bw’annyonnyodde.

Katikkiro Mayiga asinzidde wano  nasaba Bunyoro eweebwe omugabo ku mafuta. Ono akikkatirizza nti  Buganda ne Bunyoro basaana egabane ku mugabo gw’amafuta basobole okweyimirizzaawo n’okuganyulwa abantu b’ekitundu kino kuba tesobola kubeera nga nte ekamwa awatali kuweebwa mata.

 Okusinziira ku Katikkiro Mayiga ssente eziva mu mafuta zisobola  bulungi obweyambisibwa okukuuma obutonde bw’ensi, okukola ku by’obulamu, ebyenjigiriza, eby’obulimi, amakolero n’ebirala.

Ono asuubizza nti Obwakabaka bwa Buganda n’ Obukama bwa Bunyoro bujja kutondawo akakiiko akasobola okukwanaganya obukulembeze bwombi era basobole  okukola ku nsonga eziruma abantu omuli obwavu, eby’obulimi, eby’enjigiriza n’ebirala.

Ye  Omuhikirwa wa Bunyoro, Andrew Byakutaaga yebazizza Katikkiro olw’obukulembeze obulungi nagamba nti alaze nti  obukulembeze obw’ensikirano busobolera ddala bulungi okuteeka ettofaali ku ggwanga n’okukyuusa embeera z’abantu.

Byakutaaga ayanirizza ekirowoozo ky’okuteekawo enkolagana ey’omuggundu era nasuubiza okunyweeza enkolagana n’Obwakabaka.

 Owekitingisa Byakutaaga asiimye emirimu gy’Obwakabaka egiyambye okukyusa obulamu bw’abantu naddala  Emmwanyi Terimba nawera nti nabo bakugikwasa maanyi mu mwaka gw’ebyensimbi guno ogutandika.

 Ono asuubizza nga Bunyoro bwegenda okwongera okutambulira awamu ne Buganda ku ensonga y’amafuta basobole okugafunamu era bakuume obutonde bw’ensi.

Kinajjukirwa nti Ow’omumbuga obugenyi buno abuliko okumala ennaku 3 nnamba okusobola okunnyonyoka ensonga ezikwata ku mafuta n’engeri gyebasobola okugasa bannansi.

Katikkiro n’ekibinja kye era balambudde ekisaawe ky’ennyonyi ekya Kabalega Airport, ekizimbibwa okusobozesa okuleeta ebyuma ebinaakozesebwa mu kusima amafuta era enkya ono asuubirwa okulambula enzizi z’amafuta  e Buliisa, awamu n’enkulaakulana endala eri mu kitundu ekya Albertine.

Ku lugendo luno Katikkiro Mayiga yawerekeddwako; Omumyuka Ow’okubiri owa Katikkiro, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa, minisita Noah Kiyimba, Ssaabawolereza Christopher Bwanika n’abakungu abalala.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.