• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Agafa e Mengo

Katikkiro eri Minisita Mutuzo; Toyingirira bya buwangwa byaffe

Gambuuze by Gambuuze
February 18, 2020
in Agafa e Mengo
0 0
0
Katikkiro eri Minisita Mutuzo; Toyingirira bya buwangwa byaffe
0
SHARES
18
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter
Katikkiro ng’ayogerako eri abantu ku ddyo ye Oweek. Kawuki n’Oweek. Kiyimba

Musasi waffe

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga agambye minisita omubeezi mu gavumenti ey’awakati evunaanyizibwa ku kikula ky’abantu Peace Mutuzo okulekerawo okweyingiza mu by’obuwangwa bw’abantu naddala nga tebirina gwebikosa.

Okwogera bino Mayiga abadde ku Bulange Mmengo mu kutongoza enkola ya Luwalo lwange eya 2020.

Katikkiro ng’akwasa abawanguzi ppikipiki

“Mu 2020 tusaana okukuuma, okutaasa n’okutumbula obuwangwa n’ennono zaffe. Bulange eno etudde wano lwa buwangwa na nnono, muleeta oluwalo lwa buwangwa n’annono ne Ssabasajja Kabaka tumulina lwa buwangwa na nnono. N’olwekyo ennono n’obuwangwa bwebitataaganyizibwa tuyinza okuseeseetuka okuva wetuli; toyinza kumanya gy’oyinza kugwa ng’oseeseetuse,” Mayiga bwagambye.

Okuva oku ddyo Allan Ssewanyana, Oweek. Noah Kiyimba, n’Oweek. Joseph Kawuki

Gyebuvuddeko minisita Mutuzo yagamba nti gavumenti yali egenda kuwera abawala okukyalira ensiko kubanga kino mbu kikosa obulamu bwabwe.

Ebigambo bya Mutuzo byaviirako okukubaganya ebirowoozo okwamanyi ng’abantu abasinga beebuuza lwaki yeyingiza mu bitamukwatako.

Katikkiro agambye abo abagamba nti omwana okugenda ewa ssenga ne kojja kikyamu bebatateegeera mugaso gwabwe. Mayiga agambye nti ssenga bwazza omwana omuwala ku mabbali aba amututte mu ggunjjuliro.

“Omuwala ayigirizibwa okuba omuntu mulamu ssenga abuulira omwana omuwala okuba omuyonjo, okwewala obuligo, amubuulira okubeera omwegendereza, amugamba obutabakira bigambo, amukuutira okubeera omuyiiya, okubeera omukozi, kakati bino ebifa ku mibiri gy’abawala n’eby’omukisenge bigenderako bugendezi,” Mayiga bwagambye.

Agambye okubuulira kuno kugendererwamu kutegekera ebiseera eby’omumaaso eby’omwana omuwala. Kyokka era Mayiga agambye nti n’eby’omubiri ne mukisenge nabyo bikulu kubanga obutebenkevu bwa maka tebugobera bulungi bwa mubiri bwokka. “Amaka bwegatatebenkera tunajjawa abanaateeka amataffali Buganda yaffe edde ku ntikko?” Mayiga bweyeebuuzizza.

Oluwalo lw’omulundi guno lukunganyizza obukadde 26,070, 000, era Katikkiro n’asiima abo bonna abeerekerezza nebabaako kyebawaayo eri Obwakabaka.

“Ggwe Buganda wagikoleddeki omwaka oguwedde, teri be Mmengo mmwe be Mmengo. Awo nno n’ebaza abaami ba Kabaka olw’obunyiikivu,” Mayiga bwagambye.

Omukolo guno gwetabidddwako minisita avunanyizibwa ku gavumenti z’ebitundu Joseph Kawuki asabye abaami ba Kabaka okwongeramu amanyi mu mwaka guno.

Omwaka oguwedde obukadde 521 bwe bwakukanyizibwa.

Omukolo guno gwetabiddwako minisita w’amawulire ne Kabineeti Oweek. Noah Kiyimba, Allan Ssewanyana, omubaka wa Makindye ey’obugwanjuba n’abakungu abalala bangi.  

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.