Musasi waffe
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga avumiridde ebikolwa eby’obukambwe ebyakolebwa ku mubaka w’ekibuga ky’e Mityana Francis Zaake ab’ebyokwerinda.
Zaake yakwatibwa nga Apuli 19 okuva mu makage ku kyalo Buswabulongo mu Kibuga Mityana kubigambibwa nti yali agaba emmere eri abantu abakoseddwa omuggalo gwa Covid-19 ekyawerebwa Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni.
Bweyaleetebwa mu kkooti, Zaake yali ajjudde enkwagulo ku mikono, amagulu, ku mugongo nga n’amaasoge tegalaba.
Yategeeza eggwanga nti yali atulugunyiziddwa ebitagambika ng’ekimuvunaanwa sikugaba mmere wabula kuwakanya Museveni wamu n’okuwagira Munnakisinde kya People Power, Robert Kyagulanyi Ssentamu abangi gwe bayita Bobi Wine.
Ng’asinziira mu makage e Lweza Owoomumbuga Mayiga ategeezezza nti kikyamu nnyo okutulugunya abantu olw’obutakkanya mu by’obufuzi.
Agambye nti tewali muntu ayinza kukkiriza kwewozaako kwa gavumenti nti Zaake yeyeetuusaako obuvune bweyekubanga ku byuma ku kabangali ya poliisi.
Minisita avunanyizibwa ku nsonga z’omunda mu ggwanga Mario Obiga Kania wamu n’omwogezi wa Poliisi Fred Enanga baategeeza nti Zaake kennyini yeyeetuusaako obuvune ng’ayagala okufuna ettutumu wamu n’okukyayisa gavumenti wano mu Uganda saako n’ensi yonna.
Kyokka Mayiga ategeezezza nti ekyasinze okumukwatako by’ebigambo bya Zaake nti yakubibbwa lwakuba Muganda.
“Nsaba gavumenti ensonga eno eginoonyerezeeko ng’ebikolwa bino ebikolebwa abakuumaddembe tebinnasajjuka. Ffe ng’Obwakabaka bwa Buganda tetuyinza kusirika ku nsonga enkulu bweziti kubanga gavumnenti erina omulimu okukuuma abantu n’ebyabwe awatali kusosola mu mawanga, eddiini oba endowooza z’ebyobufuzi oba ekikula kyabwe,” Mayiga bwagambye.
Agasseeko nti ekimu ku byatwala Museveni mu nsiko kwekulwanyisa obusosoze mu mawanga era kyetaagisa okubonereza abo bonna ababukola.
“Obusosoze mu mawanga bwo tujja kubulwanyisa n’agomubuto tugajjeyo,” Mayiga bwagambye.
Enkya nga May 12, lwegigenda okuwera emyaka musanvu bukyanga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II akwasa Oweek. Mayiga Ddamula okumulamulirako Obuganda nga Katikkiro.
Mayiga era akozesezza okwogerakwe kuno okuyitaayita mu bituukiddwako mu Bwakabaka omwaka oguwedde.
Asabye abantu ba Kabaka okugenda mu maaso nga bakola buli ekisoboka okwetangira ekirwadde kya coronavirus ekifukamizza ensi yonna kati.
Alabudde n’abakozesa emitimbagano okuwalampa abantu wamu n’okuwa amawulire agatali matuufu nti bakikomye.
Agambye abantu nga bano bateekeddwa okwewalibwa.
“Abatujolonga ba mitendera ena; waliyo abagamba ebintu e Mmengo nga biri mu bwerufu; ffe tetukukuta, waliyo abataagala tubeere beerufu kubanga ensi yaffe erimu abalyake bangi . Omutendera ogw’okubiri, twateekawo emitendera mingi kati e Mmengo tewakyali bya diiru enkola eyo yajjamu abantu bangi era nabo beetuuma amannya mangi nebatuvuma. Ab’okusatu bebatamanyi bigenda mu maaso, boogera bwogezi, n’ekyokuna bebakwatibwa ensaalwa olw’ebituukiddwaako,” Mayiga bwagambye.
Katikkiro era abikudde ekyama ng’Obwakabaka bwebugenda okutandika kkampuni y’amateeka emanyiddwa nga Buganda Royal Chambers okuyamba abantu ba Kabaka ku nsonga z’amateeka.
Obwakaba era bugenda kutandika okukola ssabbuni ayitibwa Ddimi wamu ne butto ayitibwa Ssamuli.