• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Agafa e Mengo

Katikkiro avumiridde ebikolwa ebityoboola obuwangwa mukwanjula

Gambuuze by Gambuuze
January 11, 2021
in Agafa e Mengo
0 0
0
Katikkiro avumiridde ebikolwa ebityoboola obuwangwa mukwanjula
0
SHARES
16
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Stephen Kulubasi

Buddu

Katikkiro wa Buganda, Owek. Charles Peter Mayiga, akubirizza abantu okukuuma empisa ezikolebwa mu mikolo gy’obuwangwa mu butuufu bwazo, emikolo gisobole okusigala nga gya buvunaanyizibwa.

Katikkiro Mayiga, abagole wamu n’abagenyi baabwe

 Obubaka buno Katikkiro abuweeredde Masaka ku mukolo gw’okwanjula kwa muwala we, Namukasa Viola era ng’ono abadde ayanjula omwami we  Ssenkungu Livingstone.

 “Okwanjula mukolo gwa buwangwa era gulina ennono kwe gutambulira. Naye era mukolo gwa ssanyu era tulina okusanyuka naye tulina okusanyuka mu ngeri esaanidde. Okwanjula mukukole mu ssanyu era nga kutambulira ku mulembe naye ennono y’omukolo ekuumibwe.” Bw’ategeezezza.

Mukuumaddamula era avumiridde ebikolwa ebikolebwa ku mikolo gy’okwanjula ennaku zino omuli abako okukyusiza engoye ku buko, okuzina amazina amangi ky’ayise okwesansabaga, okwanjala ebirabo mu luggya nga bwe babinnyonnyola kimu ku kimu n’ekikolwa ky’abako okumansa ssente mbu nga bakopperera obuwangwa bw’Abanigeria.

Katikkiro yasiimye nnyo bakalabalaba b’omukolo guno olw’okutambuza omukolo mu ngeri ennung’amu era n’asaba abantu okukuuma emirembe mu kalulu akabindabinda.

Namukasa Viola muwala wa mukulu wa Katikkiro, Omugenzi John Mary Mukasa Muzeeyi era omukolo gwetabiddwako abakulembeze ab’enjawulo omuli ne ssentebe wa disitulikiti y’e Masaka munnamateeka Jude Mbabaali.

Omukolo guno gwetabiddwako ebikonge eby’enjawulo okuli; baminisita, abakungu, bannaddiini wamu n’abantu abalala.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist