Katikkiro Charles Peter Mayiga atongozza wiiki ya Bulungibwansi wamu n’okusimba emiti mu Buganda.
Katikkiro bulungibwansi ono amutongoleza mu town ye Bulaga mu Busiro nga ali wamu n’abatuuze b’omu kitundu ekyo era wano Katikkiro ayodde kasasiro era naasimba emiti ku ssomero lya Bbira Primary School.
Katikkiro ku mukolo gwegumu akubirizza abantu okunnyikiza enkola ya Bulungibwansi mu mbeera y’ebyobulamu,ebyenjigiriza n’ekigendererwa eky’okwegobako endwadde zinnamutta.
Omukolo guno gwetabiddwako Minisita wa Bulungibwansi mu Buganda Owek Mariam Mayanja Nkalubo era asabye abazadde bakubirize abaana abato okusimbanga emiti mu maka gaabwe kino kibayamba okukula nga bakimanyi nti okwonoona obutondebwensi ssi kirungi.
Entikko y’emikolo yakubeerawo nga 8th/10/2019 mu gombolola ye Masuliita Mutuba 1 Kiziba era Ssaabasajja Kabaka yasiima okulabikako eri Obuganda ku lunaku olwo.