Musasi waffe
Katikkiro Charles Peter Mayiga akubagizza ab’enju y’omugenzi Prof. Richard Bwogi Kanyerezi olw’okuviibwako omuntu waabwe. Mayiga atenderezza nnyo Kanyerezi eyafudde ku ntandikwa ya wiiki eno, olw’okugunjula abaana ate n’okukola obutaweera n’atandikawo n’eddwaliro lya Kampala Hospital.
Omugenzi abadde muto wa Oweek. Joyce Mpanga.
“Ekirabo ekikulu Katonda kyeyatuwa bwe bulamu, y’ensonga lwaki okufa tukutya nnyo, oba muntu wa myaka 40 oba 80, bwafa, ggwe atamumanyi gw’agamba nti abadde akuze, naye bwoba nga obadde omumanyi oba nga wa musaayi gwo, oba abadde alina byakola nga Prof Kanyerezi bwabadde weekanga,” Mayiga bwagambye.
Agasseako nti omuntu nebwafiira ku myaka 40 oba 90 ekisaanye okutunuulirwa bwe bulamu bwe oba bubadde n’ekiruubirirwa.
“Obulamu obulina ekiruubirirwa buba n’ennyingo ssatu; yafuna abaana yabalabirira atya? Eky’okubiri, yakolagana atya n’abantu. Eky’okusatu emirimu, omuntu munsi yakola mirimuki? Ennyingo ezo essatu, zezitubuulira omugaso gw’omuntu gwabadde nagwo munsi,” Mayiga bwagambye.
Kanyerezi wakusabirwa leero mu Lutikko e Namirembe oluvanyuma eziikibwe ku lw’okuna.