
Bya Ronald Mukasa
Kyaddondo-Mmengo
Kamalabyonna Charles Peter Mayiga asisinkanye omubaka wa Butuluuki (Turkey) mu Uganda Mehmet Fatih nebateesa ku ngeri gyebasobola okukolaganira awamu okutumbula embeera z’abantu.
Ensisinkano eno eyindidde mu Bulange e Mmengo ku Lwokuna era abakulu bombi boogedde ku nsonga ezitali zimu.
Mukuumaddamula Mayiga asinzidde wano
naalaga obukulu bw’obugenyi buno bwagambye nti bwa kwerula emikisa eri abantu ba Kabaka abasuubula n’abakolera mu ggwanga lya Butuluuki okunyweza ebyenfuna n’obusuubuzi.
Owek. Mayiga annyonnyodde nti ebituukiddwako mu nsisinkano eno bijja kulondoolwa ebitongole bya Buganda bisobole okufuna omukisa ogutta emikago nebinnaabyo ebya Butuluuki.

Ye Omubaka Mehmet Fatih, asuubizza okubaako emirimu egitali gimu gyebakola n’Obwakabaka okwongera okunyweza enkolagana n’abantu basobole okulaakulana.
Ensisinkano yetabiddwamu Minisita w’Amawulire Okukunga era Omwogezi w’Obwakabaka, Oweek Israel Kazibwe Kitooke.









