
Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Katikkiro Charles Peter Mayiga akubirizza abaweereza b’Obwakabaka okunyikiza enteekateeka z’Obwakabaka mu bantu b’Omutanda era banyweze obuyiiya n’obwerufu.
Entanda eno Katikkiro Mayiga agibaweeredde mu Bulange e Mmengo ku Lwokubiri bw’abadde abasisinkanye okubaako byebawayaamu n’okukuba ttooci mu mirimu.
Bw’abadde ayogerako gyebali Owek. Mayiga abasabye okubeera abakozi era bannyikize enteekateeka za Buganda ez’enjawulo mu bantu baleme kulinda baminisita kuziteekesa mu nkola.
Owek. Mayiga bano abasabye emirimu okugikola mu budde era bawagiragane, bayambagane era banyweze empuliziganya okusobola okutwala emirimu gy’Embuga mu maaso.

Ono abakuutidde okubeera abayiiya, abanyikivu, obwerufu era abakola n’okwagala era bateetenkanye kiyambe okutuukiriza emirimu bakendeeze ku byekwaso.
Owek. Mayiga abasabye okweyisa obulungi mu bantu kubanga yendabirwamu y’obwakabaka era bafube emirimu okugikola n’okwagala.
Kamalabyona Mayiga abakubiriza okwetangira endwadde nga mukenenya olwo basobole okukola emirimu obulungi kubanga Ssaabasajja Kabaka ye munyenyeso y’okulwanyisa mukenenya mu Africa.

Ye Omuteesiteesi omukulu ow’Obwakabaka bwa Buganda omukungu Josphine Nantege yeebaziza Ssaabasajja kabaka Ronald Muwenda Mutebi II olwokusiima nabalekerawo katikkiro Mayiga okusigala nga atambuza emirimu gy’obwakabaka era neyeeyama okwongera okutumbula emirimu.









