• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Agafa e Mengo

Katikkiro Asisinkanye Abakulembeze b’Abavubuka Mu Buganda.

Gambuuze by Gambuuze
May 17, 2024
in Agafa e Mengo, Amawulire
0 0
0
Katikkiro Asisinkanye Abakulembeze b’Abavubuka Mu Buganda.
0
SHARES
72
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ronald Mukasa

Mengo – Kyaddondo

Kamalabyonna wa Buganda Oweek. Charles Peter Mayiga asisinkanye abakulembeze b’abavubuka okuva mu masaza n’Eggombolola za Buganda ez’enjawulo n’abakunga okubeera abakozi era abanyikivu mu byebakola okusobola okukyusa embeera zaabwe.

Bano abakalaatidde okulwanyisa obwavu mu bitundu gye bawangalira nga bayita mu kulima emmwanyi, era kino azze akikaatiriza mu bitundu byonna gy’alambudde abalimi b’emmwanyi, ayongeddeko nti teri kisinga kuswaza nga bwavu, era abavubuka absabye okukola ennyo okubwewala.

Mukuumaddamula asanyukidde nnyo eky’okuzimba abavubuka ba buganda n’okunyweza obukulembeze ku mitendera egy’enjawulo okutuukira ddala ku byalo, era asiimye nnyo eky’abaana abawala okwenyigira mu bukulembeze, abakuutidde obutenyooma, wabula beesoowolengayo era boolese obusobozi bwabwe olwo lwe banaasobola okuwebwa obuvunaanyizibwa obwenjawulo. Wano waabasabidde n’obutawubisibwa bannakigwanyizi aboogera ebitaliimu nsa.

Minisita w’Abavubuka emizannyo n’ebitone Oweek. Robert Serwanga awezze mu maaso ga Kamalabyonna nti abakulembeze b’abavubuka baakukwata omumuli gw’obukulembeze mu bitundu gye bava, era n’abakunga okusomesa bannaabwe ku byalo gye bava, okukola nga balina ekibalo okusobola okufuna mu mirimu gyabwe. Asuubiza nti baakussa mu nkola ekiragiro kya Beene eky’okutuusa obuweereza ku bantu be mu byalo gye bawangaalira.

Oweek. Serwanga era asinzidde ku mukolo guno n’alangirira okuva 9 okutuuka nga 16 Museenene bwegenda okubeera ssabbiiti y’abavubuka mu Buganda mwe bagenda okw’oleseza bye bakola eby’enjawulo. Minisita ku lw’abavubuka bano yeeyamye okuwagira buli nteekateeka y’Obwakabaka era n’alabula bonna abalumbagana Obwakabaka ku mitimbagano nti sibaakuttirwa ku liiso.

Ssentebe w’abavubuka mu Buganda Baker Ssejjengo bwabadde ayogera ku mukolo guno yeebaziiza Kamalabyonna olw’obukulembeze obulungi era n’amuyozaayoza okutuuka ku myaka 11 ng’akuuma ddamula.Ono ayanjulidde Katikkiro ebituukiddwako mu bukulembeze bwe, omuli okunyweza obukulembeze okutuukira dala ku byalo , ebittavu eby’enjawulo ebiguddwawo mu masaza agatali gamu.

Ssejengo asabye Katikkiro ne Kabineeti ye, okutondawo akaseera mwe basobola okusisinkana abakulembeze b’abavubuka mu kyama basobole okubaako ensonga ez’ekyama ezimulungulwa. Wanoera asabye abakulembeze b’abavubuka okubeera abakakamu yadde nga wayinza okubaawo obutakanya ku nsonga ezitali zimu.

Wabaddewo n’okulayiza abakulembeze b’abavubuka okuva mu ssaza Kyaddondo ab’emitendera egy’enjawulo ne bawera okuweereza Obwakabaka obuteebalira. Omukolo guno gwetabiddwako Minisita w’Amawulire, n’Okukunga era Omwogeezi w’Obwakabaka, Oweek. Israel Kazibwe Kitooke, Abakiise b’abavubuka mu lukiiko lwa Buganda n’abantu abalala bangi.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.