Bya Pauline Nanyonjo
Mmengo-Kyaddondo
Katikkiro Charles Peter Mayiga asibiridde Meeya wa Kampala omuggya Ssaalongo Ronald Balimwezo entanda kwanasobola okutambuliza obukulembeze bwe mu kisanja kino asobole okumalako nga muwanguzi, nga bino bibadde mu nsisinkano yaabwe ku Bulange e Mmengo.
Oweek Mayiga, Balimwezo amukuutidde okutandika n’emirimu emitonotono mu woofiisi kyokka nga bwalubirira okukola eminene.
“Bwoba oyagala okukola ebinene sooka okole ebitono naye obikole bulungi kuba tosobola kukola binene nga ebitono byakulema, yadde ebiveera n’ebitulema okuggya mu Kampala, kuba ebya bbaasi bya sente nnyingi naye tusobola okufuna enkola eggyawo ebiveera mu Kampala” Katikkiro Mayiga.
Katikkiro asabye meeya Balimwezo ne bakola nabo okukola emirimu nga beterekera eranga abalowooza ku muntu asooka nga bewala engeri n’enkola y’okubabuzaabuza nga bava ku mulamwa gw’okuwakanya enteekateeka za gavumenti kale nga balubirira bulungi bwabwe n’emirimu gyabwe.
Kamalabyonna alaalise meeya Balimwezo nti tatya kukola mirimu olw’akalulu kuba bw’anakola obulungi abantu bajja kulaba era akalulu bajja kamuwa nga ekiseera kituuse.

Ye Meeya Ronald Balimwezo yeyamye nti wakutambula n’Obwakabaka kuba bulina okwolesebwa kwekumu nga okukwe okukulaakulanya abantu ba Uganda.









