Bya Ssemakula John
Kampala
Kamalabyona wa Buganda, Charles Peter Mayiga, asabye abantu okunyweza empisa zaabwe ez’Ekifirika, basobole okukuumagana n’okubeeragana kinyweze omukwano n’Oluganda wakati waabwe.
“Tulina okunyweza empisa zaffe ez’Ekifirika ez’okubeeragana, abooluganda, abeemikwano z’empagi ze tulina okwekwatako naye tuzunguwala oluusi nga ne mulirwano tokyamumanyi.” Katikkiro Mayiga bw’asabye.
Katikkiro okwogera bino asinzidde ku Eklezia ya St. Matiya Mulumba mu Kampala mu Mmisa ey’okwebaza Katonda olw’obulamu bwa Opio Hellen Keller Katonda, eyafudde ku Lwokutaano ng’ono abadde mulirwana we e Lweza mu Wakiso.
Owek. Mayiga ategeezezza nti abaddugavu basussizza okutinkiza n’empisa z’abazungu olwo ne basuula ezaabwe ekintu ekyongera okubanyiiza kuba empisa z’abazungu ze beekwatako tebazituukiriza. Abantu ab’enjawulo okuli; Abeng’anda, abako n’abeemikwano, bakedde kukung’aanira ku Eklezia y’Omutukuvu Matia Mulumba mu Kampala, okwebaza Katonda olwobulamu bwa Hellen Keller Opio, Lugaba gwe yajjuludde mu bulamu bw’ensi eno Ssabbiiti ewedde.
Katikkiro agumizza abeng’anda z’Omugenzi era n’abawa amagezi mu kiseera kino okutwala omugenzi ng’ekyokulabirako naddala nga bayigira ku mukululo gw’aleese. Ate ye akulembeddemu Mmisa eno, Fr. Boniface Lugoloobi, akubirizza abooluganda lwa Hellen Opio, okusigala nga batambulira mu bigere bye okusobola okukuuma ensingo z’alese abasizeemu. Bo abooluganda b’Omugenzi batenderezza obuweereza bwe obulungi bw’abadde omulamu obubayambye okubazimba okubafuula abantu ab’obuvunaanyizibwa.
Hellen Keller Opio yazaalibwa mu 1949 era afiiridde ku myaka 72 oluvannyuma lw’okutawaanyizibwa ekirwadde kya Kkookolo era omubiri gwe gwakugalamizibwa ku biggya bya bajjajja be, enkya mu disitulikiti ey’e Lira.