Musasi waffe
Katikkiro Charles Peter Mayiga agambye Abaganda ababeera ebweru w’eggwanga tebasaanidde kwerabira nsibuko yabwe. Nga ayogerako eri abagole, Sseviiri Jonathan Bunjo ne Claudine Tusingwire Kariisa abaagatiddwa mu bufumbo obutukuvu ku All Saints Church of Uganda e Nakasero, Mayiga agambye newankubadde abantu babeera bweru, balina okufuba okuyigiriza abaana babwe ebikwata ku ggwanga lyabwe. “Ekizibu abantu ababeera ebweru kyebagenda okufuna kyekino. Mugenda ne muzaala abaana [naye] kubanga musula mwekka, [temulinga] Abayindi oba Abachina bbo kibanguyira abaana okuyiga ennimi zaabwe kuba basula bangi. Naye tojja kuzaala baana bafuuke Bamerica okusinga bwebali Abaganda. N’olwekyo, mungeri yonna esoboka abaana mubayigirize nti beddira mmamba, Ssaabasajja Kabaka gyali nti era Baganda. Munju yammwe mubeeremu bendera ssatu, eya America, eya Uganda ne ya Buganda,” Mayiga bwategeezezza.
Agasseeko nti newankubadde abantu bagenda mu nsi endala, Bannansi b’ensi ezo tebabaaniriza bulungi n’okubakkiririzaamu ebyaddala. Katikkiro akulisizza abafumbo olw’okusalawo okutandika essuula empya mu bulamu bwabwe, nagamba nti obufumbo yengeri yokka ey’okutwala mu maaso olubu lw’abantu. Asabye Bunjo okubeera omukulembeze mu maka gabwe. “Obukulembeze kitegeeza buvunanyizibwa okunogera ebizibu eddagala okusinga okwemulugunya. Kyekyo omusajja owaddala kyakola. Buli mbeera etabaamu mukulembeze ekigivaamu buvuyo,” Mayiga bwagambye.