• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Katikkiro asabye abaami ba Kabaka abaawummula obutasuulirira Bwakabaka

Gambuuze by Gambuuze
May 1, 2021
in Amawulire
0 0
0
0
SHARES
54
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Stephen Kulubasi

Katikkiro wa Buganda Owek. Charles Peter Mayiga asisinkanye abaami b’amasaza ga Buganda abaawummula, n’abasaba okusigala nga beenyigira mu mirimu gy’Obw’akabaka, bakuume obumu.

Ensisinkano eno ebadde mu Butikkiro e Mmengo nga wano Katikkiro w’asinzidde n’abategeeza nti emirimu gya Kabaka gifaananako emisinde gy’akati, kubanga buli omu adduka n’akawa omulala ate n’asigala ng’amuwagira.

“Obuweereza bwa Kabaka giringa misinde gy’akati, buli afuna omukisa addukako egigye era oyo adduka obulungi, amuddiridde ayanguyirwa ate era oyo adduka obulungi asuubirwa okuwagira amuddiridde.” Mukuumaddamula bw’agambye n’abasaba okusigala nga bayambako abaabaddira mu bigere.

Ono avumiridde nnyo enkola y’omuntu okuweereza nga tawummula ky’agambye nti, enkola ya “mulungi omu” ezing’amya emirimu era teyagalwa mu Buganda.

Katikkiro akuutidde abaami okukoppa abawummula ne basigala nga baweereza Nnyinimu nga, Owek. Tefero Malokweza, eyaakasimibwa Omutanda. Wano w’asinzidde n’ategeeza nti Omwami wa Kabaka alina okusigaza omwoyo gwa Buganda ogutafa ne bw’aba awummudde era mbu kino kyeyolekera nnyo ku ngeri gy’asigala ng’agobereramu ensonga za Buganda ate nga gweyolekera nnyo ne mu abo abatali baami.

Wano w’abategeerezza nti ensi esigala ebatunuulidde ne bwe baba bawumm udde, “Bwe muba munnyus Obwami, musigala muli nkoko njeru, mufube okukuuma enkoko eyo nga njeru. Oyinza obutakifaako bw’oba tolina ky’okoze naye bw’onookola ekitakuuma bweru bwa nkoko, lw’ojja okumanya nti abantu bakulaba.” Bw’abagambye n’abasaba okusitukiramu bwe baliba bayitiddwa mu buweereza obulala.

Kamalabyonna asiimye abaweereza ba Kabaka bano n’ategeeza nti amannya gaabwe tegasobola kwerabirwa.” Mu nkola yaffe omuweereza omulungi, omwesigwa, omwerufu era omunyiikivu, asiimibwa.” Bw’agambye. Yeebazizza ababeezi b’abaami ba Kabaka olw’okugumiikiriza embeera abaami baabwe mwe baweerereza, kubanga bakosebwa nnyo naddala eky’abasajja baabwe obutatuulako waka. Bano nabo babaddewo wamu ne Sarah Kigongo Kikonyogo Nnamwandu w’eyali Ssekiboobo, omugenzi Benjamin Kigongo Kikonyogo abaddewo

Katikkiro yasiinyizza ne ku mbeera y’Omutanda gy’alimu n’agamba nti enteekateeka z’okumulabirira zigenda bukwakku n’agamba nti n’emisoso gy’okugenda okujjanjabirwa ebweru gy’akukolebwako okusinziira ku kuwabula kw’abasawo.
Ensisinkano eno yali yaakubaawo mwaka guwedde wabula n’etaataganyizibwa ekirwadde kya kolona.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.