Musasi waffe
Katikkiro Charles Peter Mayiga olwaleero alambudde abayizi abali mu Kisaakaate kya Maama Nnabagereka ekiyindira ku Hana International school e Nsangi. Mu bubakabwe eri abayizi, Oweek. Mayiga abakuutidde abasaakaate okussa mu nkola ebyo byonna byebayize n’agamba nti Uganda eyenkya yeesigamye ku bantu abalina obuntu bulamu.
“Ebyo byemulaba ku ttiivi sibirungi; ebyababbi abatwala ettaka ly’abantu, ababba sente za gavumenti, abo bonna tebalina buntu bulamu. Bwemujja wano nebabayigiriza obuntu bulamu temujja kubanga bbo,” Mayiga bwagambye.
Ekisaakaate ky’omulundi guno kitambulira ku mulamwa ogugamba, ‘Obuntu Bulamu y’empagi y’enkulaakulana.’
“Abasaakaate mmwe ssuubi lyaffe mu biseera eby’omumaaso. Obuntu bulamu y’empagi y’enkulaakulana [kubanga] bwobeera ng’oli muntu mulamu, obeera muntu waabuvunaanyizibwa. Omuntu mulamu afaayo ku mubiri gwe. Abaana abato bangi tebeeyonja, bw’amala okulya ekikajjo, ebikuta asuula awo, bw’amala okunywa soda akacupa akasuka mu luguudo. Bw’oba toli muyonjo tosobola kukuuma butonde bwansi,” Mayiga bwagambye.
Katikkiro yeebazizza nnyo abagunjuzi abawaddeyo ebiseera byabwe okugunjula abaana bayogeddeko nti babasuubiramu ebintu bingi. “Bwetuba ab’okuba n’ebiseera by’omumaaso ebirungi, tuteekwa okukuza abaana obulungi. Abazadde bonna abatannaleeta baana baabwe mu kisaakaate omwaka ogujja mubaleete kubanga okuyiga tekukoma,”Mayiga bwagambye.
Ate ye ssaabagunjuzi w’ekisaakaate, Rashid Lukwago yeebazizza nnyo Katikkiro olw’okufissa akadde n’abalambulako. Agambye nti abaana bebafunye omulundi guno balina empisa ekibaanguyirizza omulimu gwabwe.
“Ekisaakaate kino kyabyafaayo, abaana tubafuna nga bangi naye abaana bano balina empisa. Nsaba bazadde bammwe bafune obugagga era babeere bantu balamu nga mmwe. Katusabe mukama abaana baffe bakitegeere nti enkulaakulana si bizimbe wabula buntu bulamu,” Lukwago bwagambye. Ekisaakaate kigenda kuggalwaawo Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi ku lwomukaaga olujja nga 18/01/2020.