Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, Omulangira Cryspin Jjunju Kiwewa, Baminisita ba Kabaka, balambudde omulimu gw’okuddaabiriza ennyumba Muzibwazalampanga wegutuuse.
Mukulambula kuno Omulangira Cryspin Jjunju Kiwewa asimbye empagi ku Wankaaki wa Muzibwazalampanga nga akabonero akategeeza nti ekiseera eky’okuwunda Wankaaki kituuse. Omukolo gw’okusimba empagi eno gwa nnono era gukolebwa Kiwewa. Empagi esimbiddwa yemu kwezo ezitambuza oluggi lwa Wankaaki.
Mu kwogera kwe, Katikkiro agambye nti okutwaliza awamu omulimu gutambula bulungi era tewali kyelaliikiriza kubanga bagoberera ennono, emisoso n’emikolo egy’ennono egikolebwa ku Muzibwazalampanga.
Omulangira Jjunju Kiwewa atuusiza okusiima kwa Ssaabasajja era awadde abagirinya embuzi olw’okubeebaza okusereka Muzibwazalampanga.
Minisita w’obuwangwa, ennono n’obulambuzi, David Kyewalabye Male, agambye nti oluvannyuma lw’omulyango gwa Bwanga okuggwa, emirimu egisigadde gyakwanguwa kubanga omulangira Jjunju Kiwewa akoze emikolo egyetaagisa.