Bya Samuel Stuart Jjingo
Mmengo – Kyaddondo
Katikkiro Charles Peter Mayiga alabudde ku bantu abongera buli lukya okwerimbika mu mulimu gw’okujjanjaba abantu ky’agamba nti kivudde ku bbula lya basawo abakugu.
Okwogera bino abadde asisinkanye aba St. Padrepio Hospital, eddwaliro ery’obwanakyewa erisangibwa e Butozi Kaliisizo mu Buddu, abakulembeddwamu Mw. Henry Jjemba Lutaaya nga bano bakiise embuga okusiima obuwagizi obwabaweebwa Obwakabaka bwe baali bakuŋŋanya ensimbi z’eddwaliro lino.

“Ebbula ly’abasawo abakugu kiwadde ekyanya abantu aberimbise mu kugaba eddagala. Nina essuubi ddene abantu abetoolodde awo wonna bajja kufaayo okubatuukirira” Katikkiro Mayiga.
Kamalabyonna agamba nti endwadde ezisinga okutawanya abantu ba bulijjo nga ebiddukano, eziva mu ndya embi, obucaafu, n’omusujja gw’ensiri ate zitta abantu bangi olw’okuba nti amalwaliro gali wala bwatyo yebaziza nnyo aba St. Padrepio kye bakoze ky’ayise ekikolwa eky’obunnaddiini okuteeka eddwaliro lino mu kifo ekirimu abantu abangi.
Owoomumbuga era agamba mu kwolesebwa kw’okuzza Buganda ku ntikko, Obwakabaka butunulidde abantu ba bulijjo abasokerwako okulaba nga balya emmere ebamala, balina amazzi amayonjo, nga tebasula na bisolo era y’ensonga lwaki Obwakabaka buwagira enteekateeka z’ebyobulamu mu mbeera zonna.
Minisita w’Enkulaakulaana ya Abantu mu Bwakabaka Oweek. Choltilda Nakate Kikomeko agamba nti abantu ba St. Padrepio bakoze bulungi Obwakabaka olw’enkolagana gye balina nabwo era abasabye okwaniriza enteekateeka y’Obwakabaka eya yinsuwa ya Tubeere Balamu bakolagane n’Obwakabaka okulaba nga etuuka mu bantu ba Ssaabasajja Kabaka okusobola okukendeeza ku mugugu gw’ebyetaagisa mu bujjanjabi.
Akulembeddemu ab’eddwaliro St. Padrepio Mw. Henry Jjemba Lutaaya agamba nti eddwaliro lino kyali kya kuwaayo eri abantu abawangaalira mu bitundu by’e Kaliisizo era okukiika Embuga baluubiridde okwebaza olw’eddoboozi Obwakabaka lye bubawadde nga buyita ku mikutu gy’ebyempuliziganya egya BBS ne CBS okutuusa obujjanjabi ku bantu okuviira ddala ku mwaao e Ddimu paka Kaliisizo. Bano baguze satifikeeti okuwagira emirimu gy’Obwakabaka.










