• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Agafa e Mengo

Katikkiro alabudde abatwala Buganda mu kkooti, bajja kugiriyirira

Gambuuze by Gambuuze
October 2, 2020
in Agafa e Mengo
0 0
0
Katikkiro alabudde abatwala Buganda mu kkooti, bajja kugiriyirira
0
SHARES
34
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Gladys Nanyombi
Mmengo

Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga, alabudde abantu abamalira Obwakabaka ebiseera nga babutwala mu kkooti ku busonga obutaliimu, nti bano bagenda kutandika okugiriyirira oba okusibwa mu nkomyo.

Katikkiro Mayiga nga ayogera ku byavudde mu musango

Owek. Mayiga agambye nti Obwakabaka bufiirwa obudde bungi mu misango gino egitwalibwa abantu abamu mu kkooti n’ekigendererwa eky’okwekkusa.

Mukuumaddamula bino abyogedde mu Bulange enkya ya leero bw’abadde ayanjula ensala ya kkooti ku musango gw’abazzukulu ba Ssekabaka Daudi Chwa gwe bawaabira Ssaabasajja ne Buganda Land Board mu 2017, ku ttaka lya Ssaabasajja Kabaka erisangibwa e Masajja.

Ettaka lino liwerako Ssikweya mmayiro 16 era nga balumiriza nti ettaka lino lya Ssekabaka Daudi si lya Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II.

Oluvannyuma lwa kkooti okusala okusango negusiga bazzukulu ba Ssekabaka Daudi Chwa, Katikkiro Mayiga alaze ennyike ku bazzukulu ababadde beesiba ku ttaka eritali lyabwe, wabula nebamala obudde bwa kkooti n’Obwakabaka.

Katikkiro asinzidde wano n’alaga obwennyamivu olwabazzukulu ababadde bakifudde ekyejjenjero nga beesiba ku ttaka eritali lyabwe, ekintu ekimala obudde nga batawaanya kkooti mu kugimalira ebiseera mu kusala emisango egitaliimu nsa.

“Abazzukulu bawaabawaaba nnyo emisango ensangi zino naye byanfuna bye bivaako kino. Bwewabaawo enteekateeka y’okukulaakulanya ekifo ng’abazzukulu bannakabirye bavaayo nti lino ttaka lyaffe, batuliyirire.” Mayiga bw’ategeezezza.

Owek. Mayiga asabye kkooti zonna bulijjo okuyimirira ku magulu gaazo ng’akulira abalamuzi bwe yakoze era emisango egireetebwa nga temuli nsa gigobwe ate n’abagireeta bejjuse lwaki bagiwaaba.

Owek. Mayiga alambuludde nti bulijjo Obwakabaka bukyogera lunye nti tebulina ttaka lya Ssekabaka Daudi Chwa ery’obwannannyini okuva mu ndagaano y’olwenda (1900) lye bwali bututte.

Mayiga agambye nti wadde ettaka lino lyawandiisibwa mu kiseera nga Ssekabaka ye Kabaka alamula Obuganda, naye nga sirirye ng’omuntu era nga n’abaami ab’enjawulo okuli; Namasole, Omuwanika, Omulamuzi ne Katikkiro bonna baawandiikibwamu ettaka.

Annyonnyodde nti Obwakabaka bwafuna Mmayiro z’ettaka 350 ate Ssekabaka Chwa ng’omuntu yafuna mmayiro kikumi (100) nga zize zabwannannyini era nga zino zaaweebwa abaana be nga bwe yalaama.

Kamalabyonna asabye Ssaabawolereza wa Buganda, owek Christopher Bwanika, okukola ekisoboka okukangavvula abantu abawaabira Ssaabasajja ne Buganda nga basasula ensimbi Buganda z’ebeera esaasaanyizza mu musango.

Katikkiro ajjukiza abantu abali ku ttaka lya Buganda mu bifo omuli; Busaabala, Kigo, Makindye n’awalala, okweyunira ekitongole kya Buganda Land Board basobole okumanya ekituufu ku bifa ku ttaka kwe bali.

Ye Ssaabawolereza wa Buganda, Owek. Christopher Bwanika, alambuludde ensibuko y’omusango guno era nti baasaba gugobwe kubanga abawaaba tebalina mpagi kwe beesigama era nga gwawaabwa na mu kiseera kikyamu.

Owek. Bwanika annyonnyodde nti Kkooti enkulu yakkiriziganya ne bapuliida bw’Obwakabaka n’etegeeza nti bazzukulu ba Ssekabaka Daudi Chwa tebayinza kuzuukuka oluvannyuma lw’emyaka 93 nebatandika okwesiba ku ttaka lino nga bawa ensonga ezitaliimu makulu.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.