Katikkiro Charles Peter Mayiga agugumbudde abo bonna abatunda ettaka ly’olubiri lwa Mujaguzo e Kabowa wamu naabo abakyalizimbako okukikomya mu bunambiro bwatyo nabajjukiza nti ettaka lino lya nnono. Katikkiro okwogera bino abadde agenze okulambula embuga z’engoma enkulu mu Buganda ezisangibwa ku ttaka lino, omuli; Kawuula, Kireega, Kimoomera, ne Mujaguzo Kawulugumu eriweza yiika 40 (40acres) wabula nga kati ettaka lino erisinga litundiddwa. Katikkiro era asinzidde wano nategeeza nga enteekateeka bweziwedde ez’okuzimba bbugwe okwetooloola Olubiri lwa Mujaguzo nga kino kikoleddwa okutangira banna kigwanyizi abaagala okubba ettaka lino.
Minisita wa Buganda avunanyizibwa ku mbiri, ennono, obuwangwa n’obulambuzi, Owek David Kyewalabye Male asabye abo abaaweebwa obuvunaanyizibwa okukuuma olubiri luno okumanya omulimu ogwabaleeta kubanga tebalina bwannannyini mu kifo ekyo bubakkiriza kutunda bifo bya nnono.
Katikkiro mu kulambula kuno awerekeddwako; Omukubiriza w’olukiiko lwa Buganda Owek Patrick Luwagga Mugumbule, Minisita w’amawulire, Olukiiko, Kabineeti, era Omwogezi w’obwakabaka, Noah Kiyimba, abaami ba Kabaka nga bakulembeddwamu Kaggo, n’abakulembeze ku mitendera egy’enjawulo.