Musasi waffe
Katikkiro Charles Peter Mayiga alabudde Abaganda okwegendereza abantu abaagala okukyusa ensalawo ya Kabaka ku misango gy’ebika n’agamba bano balabe ba Buganda era basaanye okwegenderezebwa. Nga ayogerako ne Bannamawulire ku Bulange Mmengo, Mayiga ategeezezza nti yafunye ebbaluwa eva wa Ssalongo Moses Kimera Bukuku nga eraga nti bagenda kutuuza Omutaka owakasolya ow’ekika kye Nvubu Kayita. Mayiga agambye nti kino kikyamu era Obwa Kabaka bukivumirira kubanga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi yali yasalawo dda nti Omutaka Emmanuel Musoke Makaabugo ye Kayita omutuufu. “Tulabula okwegendereza abaantu abo abalaba Ssabasajja Kabaka mu kamwa, abeekangabiriza nga beefuula kyebatali era kyetutajja kukiriza ffe abalina obuyinza Kabaka bweyatukwasa okumulamulirako Obuganda kutyobola Ssaabasajja Kabaka n’ekitiibwa kye,” Mayiga bwagambye.
Obubaka bwa Katikkiro mubujjuvu
Buganda etudde ku masiga asatu; olulyo Olulangira oluvaamu Kabaka, essiga ery’okubiri by’ebika n’essiga ery’okusatu lye ly’abaami. Mu nsonga zaffe Ssemasonga ettaano mwemuli ennyingo ekwata ku bika. Obukulemebze bwebika nsonga nkulu nnyo mu Buganda era buli Muganda yenna akimanyi nti Ssaabasajja ye SSaabataka. N’olwekyo, Kabaka y’alina obuyinza obwenkomeredde ku nsonga z’ebika. Singa mu bika waabaayo endooliito, waliwo amakubo asatu agayinza okuzimalawo. Ekkubo erisooka mu bika mutera okubaamu embuga era Ssaabasajja yalagira dda buli kika kibeere n’embuga eramula ensonga mu kika. Naye ekkubo eryo bwerirema, ebika biyinza okujja mu ddiiro lya Katikkiro erikulirwa Kisekwa. Buli alina kyavunaana ekyalemwa mukika munda, asobola okukyanjula. Abatamatidde, n’agenda mu mbuga esembayo ey’okuntikko ewa Ssaabasajja Kabaka era kyasalawo tekiddibwamu. Mulimu gwange nga Katikkiro okutuusa mu bika Ssaabasajja Kabaka kyaba asazeewo era sikkiriza bantu bonna kwekangabiriza nga Kabaka amaze okusalawo ensonga yonna ekwata ku kika kyonna era tewali muntu yenna alina buyinza kujjulula, kukyusaamu oba kugattako kw’ekyo Kabaka kyaba asazeewo mu bukulembeze bw’ekika ku mutendera gwonna. Eggulo nafunye ebbaluwa okuva ewa Ssalongo Moses Kimera Bukuku nga antegeeza nti bagenda kutuuza ye gwayita Kayita mukika kye e Nvubu. Ekyo kikyamu era tetujja kukikirizza. Nga 23/8/ 2017, eddiiro lya Katikkiro lyawa ennamula yaalyo ku nsonga z’obukulembeze mu kasolya mukika ky’e Nvubu era ng’omutaka Emmanuel Musoke Makaabugo, ye Kayita mukika ky’e Nvubu. Kino kyaddirira Kabaka okulagira nga 12/10/ 2016 fayiro y’okujulira kw’Omutaka Musoke okuzzibwa mu mbuga ya Kisekwa okwekennenya ensonga ssatu. Waliwo omutaka Nsikoteyomba eyavunaana omutaka Makaabugo nti siye mukulu w’ekika ky’e Nvubu mumyaka gye kyenda. Era mu mwaka 2000 eddiiro lya Katikkiro ne lisalawo nti Emmanuel Musoke is ye Kayita omutuufu, n’ajulira ewa Ssaabasajja Kabaka eyatwala ebbanga eggwanvu ennyo okwekennenya ensonga ezo era bweyamala, n’anziriza fayiro n’andagira ngizzeyo mu Mbuga ya Kisekwa, y’ekennenye esonga zino.
- Oba ng’omuwawabirwa yagaanibwa okuleeta obujulizi bweyalina mumusango gwe.
- Kisekwa yeekennenye oba nga Ssekabaka Daudi Chwa omusango guno yali yaguwulira era nga waliwo obujjulizi obulaga kino.
- Kisekwa yekennenye oba nga Ssekabaka Daudi Chwa bwaba nga yagusala, yagulamula atya? Awo nno, nga 23/08/2017, Kisekwa yalamula.Ssekabaka Daudi Chwa II yakakasa nti Lukka Makaabugo yew’ensikirano era ye Kayita omukulu w’ekika kye Nvubu e Mbazi mu Kyaggwe.Yalagira nti ow’essiga Sserumaga okubeera omuwulize eri Kayita.Bano abakaayanira obwa Kayita bava mu Sserumaga ensonga eyalamulwa edda Ssekabaka Daudi Chwa era n’ekakasibwa Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II. Kino kitegeeza nti Omutaka Emmanule Musoke Makaabugo ye mutaka omukulu w’ekika kye Nvubu e Mbazi mu Kyaggwe era tewali Kayita mulala nze gwenja kukolagana naye era tewali Kayita mulala ajja kutuula mu lukiiko lw’abataka, ajja kuyitibwa ku mikolo gya Kabaka okujjako Musoke nga Ssabasajja Kabaka bweyalamula. No’lwekyo, emikolo egiteekebwateekebwa Ssalongo Moses Kimera Bukuku, giyimiriziddwa era agyetabamu agyetabamu kululwe. Waliwo n’ebika ebirala ebisatu omuli endooliito zino. Ekika kye Kkobe esonga ezo nazo zaawulirwa ewa Kisekwa newabaawo okujjulira era Ssabasajja Kabaka n’aziramula. Era omutaka eyatuuzibwa Namwama ye Omutaka Augustine Mutumba. Tewaliiyo Namwama mulala era teriiyo mutaka agya kutuula mu lukiiko lw’abataka atali ye. Mpuulira aboogera era ennaku ezo baatuuza n’olukiiko e Mawogola nti Namwama abayise, ebyo byappa. Era tewali kijja kuva mu nkiiko ezo kijja kutambulizibwa mu nteekateeka za bwa Kabaka. Ekika ekirala kye kya Nakinsige, ensonag eno yawulirwa era nebajulira ewa Ssabasajja era n’alamula nti omutaka Fred Mayega ye Kyeyune e Mirembe owakasolya mu kika kya Nakinsige. N’ekika ekirala kye kye Nkima, emabegako awo, nawulira eyeeyta Mugema, nze simumanyi. Omutaka gwemanyi ye Charles Nsejjere eyasumika Kabaka e Naggalabi mu 1993. Tewabaawo muntu yekangabiriza kwejja ku Ssabasajja kyaazeewo. Toyinza kugamba nti olwanirira nnonno ate n’otawulira kya Kabaka kyagamba nebwekiba kikunyize, olina okukigondera. Waliwo kyetuyita okukwata mu nkanamu, ng’olina esonga eyessimba n’osaba Kabaka yejjulule kunsala ye, yengeri yokka ensalawo ya Ssabasajja gyeyinza okukyukamu nga ye kenyini agijjuludde. Ab’ekika ky’e Nvubu bwebaba balowooza nti Omutaka Makaabugo si ye Kayita ate nga Kabaka bwatyo bweyasalawo, balina kwata mu Nkanamu. Tulabula abantu okwegendereza abaantu abo abalaba Ssabasajja Kabaka mu kamwa, abeekangabiriza nga beefuula kyebatali era kyetutajja kukiriza ffe abalina obuyinza Kabaka bweyatukwasa okumulamulirako Obuganda kutyobola Ssabasajja Kabaka n’ekitiibwa kye.