Katikkiro wa Buganda alambudde amaka amaggya aga Joint Clinical research center e Lubowa. Alambudde laboratory wamu n’ebyuma eby’enjawulo ebikozesebwa mu kukebera obulwadde bwa Nalubiri ne mukenenya.
Mu kwogera kwe, agambye nti “obulwadde bwa mukenenya bwazza nnyo Uganda emabega era yeebazizza JCRC ekoze omulimu mu kunoonyereza n’okulwanyisa akawuka ka mukenenya, ebizuuliddwa mu kunoonyereza JCRC kwekoze bikoze kinene nnyo mu kutaasa obulamu bwabantu mu Uganda ne mu nsi yonna. Agasseeko nti JCRC nkulu nnyo mu Uganda kumpi buli muntu akoseddwa akawuka ka mukenenya, oba afiiriddwa abantu be, alwazizza abantu be, oba ye yennyini ye mulwadde. N’olwekyo abakola mu kunoonyereza ku kawuka ka mukenenya bebazira baffe betulinawo betusaana okutendereza kubanga omuntu afa ku bulamu bwo abeera mukwano gwo asooka.”
Minisita w’Obwakabaka ow’enkulaakulana y’abantu era avunaanyizibwa ku by’obulamu, Dr. Prosperous Nankindu ategeezezza nti obwakabaka nga buyita mu Ssaabasajja Kabaka bukyagenda mu maaso okukubiriza abantu naddala abaami okwekebeza akawuka ka mukenenya nga ne ku mulundi guno ku mpaka z’amasaza ez’akamalirizo mu kisaawe e Namboole wajja kubeerawo enteekateeka ey’enjawulo okutuusa obubaka eri bannabyamizannyo abanaaba bazze okuwagira Amasaza gaabwe.
Omukolo guno gwetabiddwako; omukubiriza w’olukiiko lwa Buganda Owek Patrick Luwagga Mugumbule, Minisita webyobulamu eyawummula, Dr. Ben Mukwaya, Kaggo, n’abaami ba Kabaka ku mitendera egy’enjawulo era nga gubadde mu maka ga Joint Clinical Research Center amaggya e Lubowa ku luguudo lw’Entebbe.