Bya Maria Gorreth Namisagga
Muyenga – Kyaddondo
Katikkiro yeetabye mu kusabira Omugenzi Mary Kiryabwire, ng’ono ye maama w’omulamuzi Professor George Kiryabwire, mu maka ge agasangibwa e Muyenga mu divizoni ya Makindye Ssabagabo.

Kamalabyonna Charles Peter Mayiga, mu bubaka bwe asaasidde nnyo aba Family wamu n’abekika ky’Omusu olw’okufiirwa omuntu omukulu bwatiAkuutidde abaana b’omugenzi obutakaaba nnyo , kubanga byonna by’abadde alina okukola ku nsi abikoze, naddala nga akola ng’omusawo, ng’omuzadde, okubeera omujjumbize mu kkanisa n’ebirala.
“Nsasiira nnyo Ab’Omusu bazzukkulu ba Muyingo, tubasaasidde nnyo olw’okufiirwa omuntu omukulu bwati, naye temukaaba nnyo kubanga emirimu gy’atekeeddwa okukola agikoze, ng’Omusawo yaweereza nnyo, ng’omuzadde akuzizza abaana, era tumulabira mu baana be n’embeera zaabwe, aleze abazzukulu, mu kkanisa abadde munyiikivu, abantu ennaku zino bawandiika nnyo ku butabo buno nga tufiiriddwa, ‘tujaguza obulamu bwa gundi’ oluusi babiwandiika ku bantu nga tebasaana, nga tewali nnyo byakujaguza nga gulinga musono, naye omukyala ono azadde abaana ba dokita, abalamuzi n’abalala kirabikira ddala nga tulina okujaguza obulamu bwe kubanga abadde muzira n’olwekyo ssebo, temukaaba nnyo nga abatalina bammwe” Katikkiro Mayiga.
Akulembeddemu okusaba Rev. Paulson Tumugyereize okuva mu kkanisa ya All Saints e Nakasero, abuulidde ab’ennyumba y’omugenzi, nti basobolera ddala okukola ebyo ebisinga kw’ebyo bakadde baabwe bye baakola era ne batwaala mu maaso n’omukululo gwabwe, naddala singa beekwata Yesu, mu byonna bye bakola.

Omulamuzi George Kiryabwiire yebazizza nnyo Kamalabyonna olwokubafissiza obudde n’agendayo n’ababudaabuda; “Ssebo tusanyuse nnyo okulaba, weebale okwefiiriza obudde, n’ojja n’otubudaabuda, okubeera naffe okututeekamu amaanyi, tusiimye nnyo weebale nnyo weebalire ddala.Okusaba
Okusaba kuno kwetabiddwaako abantu ab’enjawulo okuli Omulamuzi Irene Muryagonja, Omulamuzi Richard Buteera, abasawo okuva mu malwaliiro ag’enjawulo ab’enganda wamu n’abemikwano. Omugenzi Mary Kiryabwire yafiiridde ku gy’obukulu 94, era nga agenda kuziikibwa mu district eye Kibuku.








