Katikkiro wa Buganda, Oweek. Charles Peter Mayiga agambye nti tekisoboka kuzza Buganda ku ntikko ng’abantu balwadde. Okwogera bino Katikkiro abadde mugenyi mukulu mu kuggulawo eddwaliro lya Henrob Medical Center e Zzana.
Musasi waffe
“Obwakabaka busoosowaza eby’obulamu; mu mwaka guno tuteeseteese okuba n’ensiisira z’ebyobulamu ezisoba mu 150 era tusuubira okutuusa abujjanjabi ku bantu abasoba mu 100,000. Tugenda kukebera mukenenya, Nalubiri, okugema endwadde ng’omusujja gw’ekibumba, n’endwadde entonotono ng’omusujja gw’ensiri. Njagala tubeere balamu nga Kabaka bwatwagala okusobola okuzza Buganda ku ntikko,” Mayiga bwategeezezza.
Agasseeko nti buli mwaka bwegutandika, abantu batera okuba ne bye basalawo okukola mu mwaka omupya ng’oluusi biba binene nnyo nga kizibu okutuukirizibwa. N’olwekyo, nasaba abantu okukola ebintu ebitonotono ebisoboka. “Bw’osalawo okulongoosa embeera z’obulamubwo kiringa ekitono naye nga kyansonga. Omuntu omulamu yatuuka ku byeyegomba. Okusalawo okwengeri eyo kuyinza okuba okw’omugaso nekukusobozesa okukola emirimu mingi,” Katikkiro bwagambye. Mayiga akulisizza nnyo Dr John Bosco Spire Kiggundu, omutandisi w’eddwaliro lino olw’okulizimba, bwatyo n’akowoola abantu bonna mu kitundu okugenda okufuna obujjanjabi.
Ku lulwe, Minisita avunanyizibwa ku by’obulamu Oweek. Prosperous Nankindu Kavuma naye asiimye nnyo Dr Kiggundu olw’ekirowoozo ky’okuzimba eddwaliro. Asabye abantu bonna okufuba okulaba nga bamanya obulamu bwabwe nga bwebuyimirdde. Agambye omuntu asaasanya esente ntono bwamanya obulwadde nga bwakajja. Ate ye Dr Kiggundu asiimye nnyo Katikkiro olw’okujja naggulawo eddwaliro lino. Yeebazizza nnyo n’abo bonna ababadde bagenda mu ddwaliro lye okufuna obujjanjabi n’agamba kyekisobodde okubakulaakulanya.