Musasi waffe
Katikkiro wa Buganda Oweek. Charles Peter Mayiga, asabye abakulembeze okwetooloola Uganda okulabira ku banna Rotary Club, okukola ebintu ebigasa abantu.
Bwabadde ku mukolo gw’okutuuza
President wa Rotary club of Kasangati omuggya, Elizabeth Ssempebwa, azze mu bigere bya Mildred Bahemuka, Mayiga ategeezezza nti mu Africa kizibu okumala ennaku bbiri nga towulidde muntu ayogera ku kulwanyisa obwavu oba ku kulongoosa embeera z’abantu naye ne beerabira ebintu ebikulu.
“Okusoomoozebwa kwetulina, amaanyi gaffe tugamalidde ku bintu ebinene ennyo netwerabira obuntu obusookerwako. Emmale mu nnyanja erya nkejje oba mukene, bwetuba twagala okukola ebintu ebinene tuyige okukola obuntu obutono obusookerwako,” Mayiga bwagambye.
Agasseeko nti mu Africa obukulembeze tebufiibwako ng’ate yennamuziga yabuli kimu.
“Twagala kukola mikago oluusi twagala kuzimba nguudo, tebyandibadde bibi naye tuyige okukola ebintu ebisookerwako nga Rotary bwekola; efaayo nnyo ku bukulembeze obugiyamba okuzuula ensonga ezisookerwako. Obuyonjo sibwebuleeta obulamu, amazzi agamala ate nga mayonjo. Ffe abakulembeze tuteekeddwa okukoppa Rotary kwebyo kubanga omukulembeze akola ebintu ebisookerwako nga bigasa,” Mayiga bwagambye ku mukolo ogubadde mu bimuli bya Bulange.
Ku mukolo gwegumu Katikkiro era atongozza ekitabo “Mayiga, A Transformational Katikkiro,” ekyawandiikibwa munnamateeka Francis Buwuule.
Ekitabo kyogera ku ttaka, enfuga ya Federo, obukulembeze ku buli mutendera, era kisiima Katikkiro byakoze.
Mu ngeri yeemu, Katikkiro era atuuzizza pulezidenti wa Rotaract ye Kasangati Ddungu Namirimu Joana wamu ne Pulezidenti wa Rotaract ye Nangabo, Lukiya Nakiwala.