Bya Stephen Kulubasi
Katikkiro wa Buganda, Owek. Charles Peter Mayiga, asiimye abavubuka abawangaala n’akawuka ka Mukenenya olw’obutekubagiza wadde nga balwaddde era n’asaba abalala okubalabirako.
“Njagala nnyo abavubuka abamalirivu nga mmwe kubanga mutambula n’akawuka naye temwefeebya.” Katikkiro bwe yategeezezza. Okwogera bino, owoomumbuga yabadde aggalawo omusomo gw’abavubuka abalina akawuka ka Mukenenya ogwategekeddwa aba Uganda Network of Young People Living with HIV ku Hotel Africana olunaku lw’eggulo.
Bano era yabategezezza nti omulwadde wa Mukenenya tewali kyatasobola kukola era n’abasaba beenyigire mu lutalo lw’okulwanyisa nnawookeera w’ekirwadde kino.
Mukuumaddamula yabakuutidde obutasaasaanya kawuka ate nabo beekuume beewale okunonooza ebika by’akawuka bye batalina. Owek. Mayiga yasinzidde wano n’asaba abavubuka naddala aboobulenzi okukulemberamu olutalo lw’okulwanyisa Ssirimu.
“Bw’oba ogenda mu by’okwegatta sooka olowooze ku mwannyoka olwo lw’ojja okusobola okukola ebitangira ensaasaana y’akawuka.
Mu ngeri y’emu yakubirizza abaana boobuwala obuteesuulirayo gwa nnaggamba nga beenyigira mu kikolwa ekiyinza okubaviirako okulwala.
Yabagambye babeere balabufu bakubirize abasajja okukozesa obupiira obuziyiza ensaasaana y’akawuka akaleeta Mukenenya
Omusomo gwetabiddwamu Ambassador wa Sweden wamu ne Minisita atwala eby’obulamu mu Bwakabaka Owek Dr. Prosperous Nankindu Kavuma