• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Katikkiro akkaatirizza omugaso gw’amawulire munkulaakulana y’eggwanga

Gambuuze by Gambuuze
February 28, 2020
in Amawulire
0 0
0
Katikkiro akkaatirizza omugaso gw’amawulire munkulaakulana y’eggwanga
0
SHARES
15
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter
Katikkiro ku ddyo ne minisita Judith Nabakooba mu maaso ga Bulange

Musasi waffe

Katikkiro wa Buganda Oweek. Charles Peter Mayiga akkaatirizza omugaso gw’amawulire mu kutumbula enkulaakulana y’abantu.

Bwabadde asisinkanye Minisita mu gavumenti ya wakati akola ku nsonga z’amawulire ne tekinologiya, Judith Nabakooba mu Bulange e Mmengo, Mayiga ategeezezza nti eby’empuliziganya kyekimu ku by’obuggagga ebisinga.

 “Byetukola byonna biyinza obutayamba singa abantu tebabimanya. Enteekateeka zetukola abantu basaana bazimanye kubanga bwebatategeera byetukola tebayinza kubyettanira. Awatali byampuliziganya tewasobola kubaawo nkulaakulana,” Mayiga bwagambye.

Kyokka agasseko nti newankubadde nga gavumenti erina aboogezi, ebiseera ebisinga obungi abawulira boogera ku by’abufuzi byokka.

“Enteekateeka eziyamba abavubuka lwaki tebazoogerako?” Mayiga bweyeebuuzizza.

Mayiga era akulisizza nnyo Nabakooba olw’okulondebwa ku bwa minisita n’agamba nti abakyala bassaayo nnyo omwoyo kubuvunanyizibwa obubakwasibwa okusinga abasajja.

“Abakyala tebatera kulemwa buvunanyizibwa bubakwasiddwa. Awo nno omukyala okuba nga yeyalondebwa mu kifo kino, tulowooza kyamukisa munene eri abaana abawala kubanga bw’oba on’okuza eggwanga ogunjula mukyala. Tukuyozaayoza era tukusabira,” Mayiga bwagambye.

Kululwe, Nabakooba asabye Obwakabaka okukwasizaako ku gavumenti ng’abatuusa amawulire agakwata ku nkulaakulana eri abantu okuyita ku mikutu gyabo egya leediyo ne ttivi.

“Emikutu gyaffe gyetulina gituyamba nga gavumenti naddala singa tuba tulina amawulire agakwata ku bannayuganda mu bintu eby’enjawulo. Tusaba bwetuba tubatuukiridde nga gavumenti mutuweeyo obudde okusomesa abantu baffe,” Nabakooba bwagambye.

Ayongeddeko nti bakimanyi nti eddoboozi ly’Obwakabaka liwulirizibwa bangi n’olwekyo nga kyetaagisa okubeeyambisa okutuuka eri abantu.

“Wano tulinawo leediyo bbiri wamu ne ttivi ate nga ziwulirizibwa naddala wano mu Buganda tusobola okuzikozesa okusomesa abavubuka eby’okwekulaakulanya,” Nabakooba ,ng’ono abadde awerekeddwako abakungu okuva mu ministule ye bwagambye.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist