Bya Shafik Miiro
Mengo
Katikkiro Charles Peter Mayiga asabye abakulira ebitongole by’Obwakabaka okutambulira awamu ng’ekitole basobole okutuukiriza obulungi obuvunaanyizibwa Beene bweyabakwasa. Bano Katikkiro abategeezezza nti ng’oggyeko okutambuza obulungi emirimu, obumu buyamba okubeera n’eddoobozi ery’awamu, nga kino kikulu ennyo mu okulwanyisa abalabe b’Obwakabaka naddala abasaasaanya amawulire ag’obulimba. Bino Kamalabyonna abyogeredde mu nsisinkano gyabaddemu ne bassenkulu wamu ne bassentebe ba bboodi z’ebitongole by’Obwakabaka ku Kitebe ky’ekitongole ky’ebyobulambuzi ki Buganda Heritage and Tourism Board e Mengo

Mukuumaddamula abalambise ku ngeri zebasobola okutumbulamu obumu ng’emu ku zzo ya kwewagira mu nzirukanya y’emirimu beewanirire emirimu gisobole okutambula. Mu ngeri yeemu, Abakungu ba Beene bano Katikkiro abasabye okwewala okukaaba nga bafunye ebibasomooza wabula bateme empenda ezibivvuunuka ate banyiikirire nnyo okuyiga n’okwongera ku kumanya emirimu gibanguyire.


Owomumbuga bano abeebazizza olw’obuyiiya n’okufuba okukulaakulanya ebitongole by’Embuga era nabategeeza Nnyinimu musanyufu olw’obuweereza bwabwe. Ensisinkano eno yetabiddwamu ne Minisita wa Kabineeti, Olukiiko n’Ensonga za woofiisi ya Katikkiro, Owek. Noah Kiyimba.









