Musasi Waffe
Katikkiro Charles Peter Mayiga asanyukidde omukago wakati w’Obwakabaka n’ekibiina eky’obwannakyewa ekya Rotary Club kukuuma obutonde bwensi. Ng’asisinkanyemu ne Bannarotary ku Bulange e Mmengo, Mayiga yategeezezza nti eky’obugagga Uganda kyerina ekiteekeddwa okukuumwa obutiribiri, bwebutonde bwensi. “Ennaku zino abantu bwebabuuza kya bugagga ki kyetulina bagamba mafuta. Nze ndowooza eky’obugagga ekisinga y’embeera y’obudde n’amazzi. Ng’ogyeko obulabbayi, nze tewali kisinga kuneeraliikiriza nga kutyoboola butonde bwansi kuba tugenda okufiirwa amazzi n’obutonde bwonna bugwewo abazzukulu baffe babonaabonere muggwanga lino nga limaze okufuuka eddungu,” Mayiga bweyategeezezza. Yagasseeko nti enkolagana wakati wa Rotary n’Obwakabaka Ssabasajja Kabaka yeyalagira etandikibwewo olw’omugaso gw’obutonde bwensi, n’agamba bagenda genda mumaaso okuginyweza. “Rotary bwevaayo nekolagana n’Obwakabaka kubutonde bwensi nze ndowooza guno gw’emukago ogusinga okuba ogw’omuwendo omuzito gwetulina ng’Obwakabaka. Tujja kugenda mumaaso okulaba nga buli ekisoboka okukuuma omukago guno tukikola, ensi yaffe eddeyo okufuna erinnya lyayo ettuufu nti ffe eddulu lya Afirika,” Mayiga bweyagambye.