• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Katikkiro Ajjukiza Abantu Obukulu bw’Okulaama

Gambuuze by Gambuuze
October 14, 2025
in Amawulire
0 0
0
Katikkiro Ajjukiza Abantu Obukulu bw’Okulaama
0
SHARES
82
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Samuel Stuart Jjingo

Gayaza – Kyaddondo

“Okulaama nga mukyali mu bulamu bw’ensi eno tekiraga nti mugenda kufa.”

Bino byogeddwa Kamalabyonna wa Buganda Owek. Charles Peter Mayiga bw’abadde yetabye mu kuziika maama wa munywanyi we George Mirembe Kasujja, Omugenzi Omubitokati Kabatalya Beatrice Amooti e Luteete ku luguudo lw’e Gayaza.

Katikkiro agamba nti Omugenzi Amooti asize ekifaananyi ekirungi eri eggwanga olw’okulaama nga akyali mulamu.

“Maama atuyigirizza ensonga ey’enkizo ey’okulaama nga tukyali balamu era mbasaba okusigala kw’ebyo maama by’atadde mu kiraamo kye naddala okusigala obumu nga Abooluganda.” Katikkiro Mayiga.

Katikkiro agamba nti embeera z’abantu zesigama nnyo ku nkuza n’ensigo ezibateekebwamu bazadde baabwe awo weyebalizza omugenzi olw’okukuza abaana be awamu n’okubasomesa, okubatendeeka, n’okubasigamu omutima gw’okweyimirizaawo nga ssekinoomu.

Omusumba Peter Babu Kyambadde akulembeddemu okusabira omugenzi agamba nti buli muntu yenna asanye okuleka omukululo ku nsi ogunamujjukirwako nga agireseewo bw’atyo n’asaba aba famire y’omugenzi Amooti okukwata obulamu bwabwe nga eky’ebbeeyi nga bazimba famire zaabwe okubeera ez’amaanyi mu mpisa, ennono. Omusumba abasabye okuwandiika obutabo obukwata ku bulamu bwabwe, okuyigiriza abantu ebintu ebibafudde ab’enjawulo mu nsi muno.

Mw. Ssematiko Stephen Godfrey yayogedde ku lw’abaana mu maka gano yeebaziza nnyo Katonda olw’obulamu bw’amuwadde ku nsi eno era atenderezza maama we olw’okubeera omukozi nga abasomeseza bonna newankubadde nga ye teyasoma. Mw. Ssematiko agamba nti maama waabwe yaliko nnalulungi w’eggwanga ekimuyambyeko okutuuka mu buli woofiisi gy’abadde yeggwanyiza.

Abooluganda b’omugenzi nga bakulembeddwamu Patrick Mugenyi Kabakasa batendereza obugumu, obutetenkanya, obugezi n’okubeera omuntu ow’enjawulo mu famire yaabwe era basabye abaana okussa mu nkola ekiraamo ky’omugenzi n’okubeera obumu mu bulamu bw’ensi.

Ku lw’omugenzi taata mu nnyumba eno, Mw. Rwabwire Paul Busingye nga ono abadde nfa nfe w’omugenzi ayogedde ku kaabaate akalindiridde oyo anaageza okuleeta obuvuyo n’okwagala okutunda ettaka mu famire eno.

Omugenzi yazaalibwa nga 1 ogw’okusatu 1941 era alese ekiraamo ekisomeddwa munnamateeka Ibembe Julius nga kirambisse abaana b’omugenzi balese, ettaka n’engabana yalyo, mw’abakuutidde okubeera obumu n’obutalwanyisa oli gw’aba alekedde ekintu kyonna.

Okuziika kuno kwetabiddwaako abantu ab’enjawulo bangi nnyo okubadde Minisita wa Kabaka eyawumula Oweek. Apollo Makubuya, abakungu ba Ssaabasajja Kabaka n’abantu abalala bangi nnyo mu biti eby’enjawulo.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.