Musais waffe

Munnamagye, Maj. Gen. Samuel Wasswa Kasirye Gwanga wakuziikwa ba famireye n’amagye ga UPDF bokka.
Okusinziira ku mwogezi w’eggye ly’eggwanga Brig. Richard Karemire, kino kikoleddwa okusobola okwewala omujjuzo mu kuziika olw’okwetangira ekirwadde kya coronavirus.
Okuziika kuno era kwakukkiribwako Bannamawulire ba ttivi y’eggwanga bokka eya UBC wamu n’olupapula lwa New Vision nga naluno lwa gavumenti.
Kasirye Gwanga wakuziikwa enkya ku Lwokutaano ku ssaawa nnya ez’okumakya ku kyalo Nkene ekisangibwa mu ssaza Busujju mu disitulikiti y’e Mityana.
“Tusaba ne balirwana ba Gen Kasirye Gwanga obutajja mu kuziika kuno olw’okwetangira ekirwadde kya coronavirus. Nga UPDF n’ebitongole byebyokwerinda ebirala, tugenda kulaba nga tussa mu nkola ebiragiro bino,” Karemire bweyagambye.
Kyokka ono yagaanye okwogera ku bigambibwa nti ettaka Kasirye Gwanga kwayagala okuziikibwa likaayanirwa.
Yagambye nti nga amagye, tebannafuna nsonga yonna ebalemesa okuziika Kasirye Gwanga mukitiibwa ekimugwanidde.
Waliyo famire y’omugenzi Kaweesi e Nkene egamba nti ettaka lino lyabwe nga Kasirye Gwanga yalibajjako lwampaka.
Kasirye Gwanga yafa ku Lwokubiri mu ddwaliro e Nakasero gyeyali amaze nga ssabbiiti bbiri ng’ekimbe kimubala embiriizi.








