Bya Ssemakula John
Kampala
Kkooti enkulu mu Kampala egobye omusango Fred Nyanzi mw’abadde awakanyiza okulondebwa kwa Muhammad Nsereko okubeera omubaka wa Kampala Central.
Nyanzi nga ye mukulu wa Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity Platform(NUP), Robert Kyagulanyi yali yatwala Nsereko n’akakiiko k’ebyokulonda mu kkooti ng’amuvunaana okubba akalulu.
Wabula bannamateeka b’akakiiko k’ebyokulonda baasaba kkooti egobe omusango guno nga bagamba nti Nsereko teyaweebwa mpaaba ya musango guno mu buntu ng’amateeka bwe gagamba.
Ku Lwokubiri, omulamuzi Margaret Apiny yakkaanyizza n’akakiiko k’ebyokulonda nti kituufu Nyanzi yalemererwa okuwa Nsereko ebbaluwa emulaga nti bamuwaabidde nga kkooti bwe yali emulagidde.
“Mu musango guno, ekyali kisuubirwa mu muwaabi ( Nyanzi) kwe kuwa Nsereko empaaba mu buntu so si kugitimba ku ggeeti ya Nsereko nga bwe yakola.” Omulamuzi Apiny bw’ategeezezza mu nsala ye esomeddwa omuwandiisi wa kkooti, Jameson Karemani.
Mu kwewozaako, Nyanzi annyonnyodde nti kaweefube waabwe okuwa Nsereko empaaba yabalemerera oluvannyuma lw’okutuuka mu maka ge e Bugoloobi, omukuumi n’abategeeza nti Nsereko taliimu era bw’atyo n’aleka empaaba eno ku ggeeti.
Nyanzi era yagenda mu Palamenti n’alekayo empaaba ewa Sipiika era n’atakoma okwo naye n’amuweereza empaaba ng’ayita ku mutimbagano gwa WhatsApp.
Bw’abadde awa ensala ye, Omulamuzi Apiny agasseeko nti Nyanzi kye yalina okukola kyali kimu kunoonya Nsereko amuwe empaaba ye mu buntu.
“Kaweefube w’okuwa Nsereko empaaba ku Palamenti, kkooti ento e Mmengo, mu makaage e Bugoloobi n’okuteeka empaaba ku Whatsapp, tekituukana n’ebyo ebiragirwa mu tteeka erikwata ku misango gy’okulonda kwa Palamenti era ndowooza nti Nsereko teyaweebwa Mpaaba nga kkooti bwe yalagira.” Omulamuzi bw’annyonnyodde.
Wano omulamuzi w’asinzidde okugoba omusango guno kuba tegulina makulu nga Nsereko teyaweebwa mpaaba wadde ekiwandiiko ekiraga nti baamuwaawaabira.
Nsereko tabaddewo nga kkooti ewa ensala yaayo era guno gwe musango ogwokubiri okugobwa olw’omuwawaabirwa obutaweebwa mpapula ziraga nti baamuwaabira ng’ogwasooka gwe gwa Muhammad Ssegiriinya omubaka wa Kawempe North ogwali gwawaabwa Sulaiman Kidandala Sserwadda.