Bya Francis Ndugwa
Ndeeba – Kampala
Katikkiro Charles Peter Mayiga atongozza empaka z’Amaato eza ‘Buganda Royal Regatta’ ez’omwaka 2024 wamu n’amateeka agagenda okutambulirako omuzannyo guno.
Omukolo Kamalabyonna Mayiga agukoledde ku Nnyanja ya Kabaka mu Ndeeba ku Lwomukaaga neyeebaza Olukiiko olukulembera omuzannyo guno olw’enteekateeka eno.
Owek. Mayiga ategeezezza nti omuzannyo gw’ Amaato mukadde nnyo mu Buganda nga gusoba mu myaka 200 era gweyolekera nnyo mu bukulembeze bwa Ssekabaka Muteesa I ne Mwanga II abanyumirwanga nga ennyo omuzannyo guno kuba ekitundu ekinene eky’ennyanja Nalubaale kyali mu mikono gya Kabaka wa Buganda.
Kamalabyonna Mayiga agamba nti Ebika bingi mu Buganda ebitambulira ku nnono z’ennyanja n’amazzi ng’omutima, emmamba, envubu n’ebirala so nga Amaato gaali nsonga nkulu nnyo okunyweza eby’okwerinda bya Buganda era ebyafaayo bingi ebikwata ku Mpingu kuba eya Ssekabaka Muteesa I yaliko Amaato agasoba mu mutwalo omulamba
Minisita avunaanyizibwa w’Ebyemizannyo, Abavubuka n’Ebitone, Owek. Robert Sserwanga asinzidde ku mukolo guno annyonnyodde nti ku luno baluubidde Amaato gano bagateeke ku mutendera gw’ensi yonna wadde maganda.
Owek. Sserwanga agasseeko nti Amaato gano galiko obulombolombo n’ennono ezigatambulirako era bakukola nnyo okukuuma ennono n’okugutwala mu maaso nga baaniriza abantu okuva mu nsi yonna okusobola okugeetabamu.
Ssentebe w’Olukiiko olukulembera omuzannyo guno, Eng. Emmanuel Ben Misagga ategeezezza nti eryato eritongozeddwa lyelisoose mu Buganda ne Uganda kuba wadde Amaato gabaddewo naye buli omu abadde afuna lirye nalireeta naye kati bonna abokwetaba mu mpaka zino balina kukozesa lino.
Okusinziira ku Eng. Misagga mu mpaka zino abavuzi bagenda kubeera bataano nga kuliko omukyala awamu naakuba eng’oma era nga lirina okukolebwa mu muti Omukebu okusobola okukuuma obuzito nga bwebumu era bino byonna bikoleddwa okuteekawo obwenkanya mu muzannyo guno.