
Bya Shafik Miiro
Kansanga – Kyaddondo
Katikkiro Mayiga agamba nti okukula mu myaka si ky’ekikulu mu bulamu, wabula omuntu byakola eri abantu n’Ensi ye, bye bisalawo oba okukula kwe kulina amakulu.
Obubaka buno abuwadde yeetabye mu kusaba kw’okwebaza olw’obulamu bwa Ssaalongo Matte Robert Sseriso e Kansanga mu Kyaddondo ku Ssande.
Mukuumaddamula Mayiga asoomezeza abantu abajaguza amazaalibwa buli mwaka oguyitawo naye nga bwe weekenenya bwe bigasizza bannaabwe nga tebalina wadde. Akikaatirizza nti okukula kw’omuntu okusinziira kw’ebyo byakola.
Katikkiro yebazizza omujaguza Robert Sseriso olw’okubeera n’omukwano ogwannamaddala era ogw’ebikola okwawukanako n’abantu bangi bagambye nti babeera n’emikwano egy’obukuusa nga ebyabwe bikomamu bigambo. Atenderezza Sseriso olw’okubeera omukozi, omuzadde omulungi ate omusajja omwesigwa.
Omukolo gwatandise n’ekitambiro ky’ emmisa ekyakulembeddwamu Ssaabasumba Paul Ssemogerere, era yasinzidde wano naasaba abakristo bulijjo okwesigamanga ku Katonda mi nsonga zonna olwo naye asobole okubatuusa ku buwanguzi.
Ssaabasumba akulisizza Sseriso okutuuka ku kkula ery’emyaka 60, n’amwebaza olw’okwagala Ekelezia n’abaweereza ba Katonda ate n’ayagala nnyo n’emikwano gye, amusabidde Katonda ayongere okumukozesa eby’ettendo.
Omujaguza Ssaalongo Matte Robert Sseriso yebazizza Katonda olw’okumuwa ekitabo ky’obulamu, n’amwebaza n’olw’emikwano gy’amuwadde gy’agambye nti gimuwaniridde nnyo mu bulamu bwe. Yebazizza buli muntu aliko ky’amuyambye mu bulamu bwe, era asuubiza okwongera okubeera n’enkolagana ennungi n’abantu.
Abooluganda n’Abemikwano gya Sseriso buli omu amwogerako birungi byerere naye okusingira ddala omukwano ogwannamaddala gw’alaga buli amuli okumpi.
Omukolo gwetabiddwako Nnaalinya Sarah Kagere ne bba Owek. Bbaale Mugera wamu n’Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro Owek. Robert Waggwa Nsibirwa n’Omukyala, Abakungu mu bitongole by’Obwakabaka ebitali bimu, bammemba ba bagagga kwagalana, Bannaddiini, Abasuubuzi abatutumufu abooluganda n’emikwano bonna ababaddewo okwebaza Katonda n’okujagulizaako Ssaalongo Sseriso okutuuka ku kkula lino.









