Bya Ssemakula John
Kampala
Ab’ebyokwerinda mu ggwanga kyaddaaki bagondedde kkooti ne baleeta omuwandiisi w’obutabo, Kakwenza Rukirabashaija mu maaso g’omulamuzi wa Buganda Road n’asomerwa emisango egiwerako era oluvannyuma n’asindikibwa ku alimanda.
Kyategerekese nti okuva lwe yakwatibwa okuva mu makaage e Kisaasi nga Desemba 28,2021 Kakwenza abadde tasimbibwangako mu maaso ga mulamuzi yenna ekyawaliriza bannamateeka be okuddukira mu kkooti.
Wadde kkooti esookerwako e Makindye yalagira Kakwenza ateebwe ssabbiiti eyise naye poliisi ebiragiro bino yagaana okubigondera.
Eggulo ku Mmande, omulamuzi wa kkooti enkulu mu Kampala, Musa Ssekaana yalagidde adduumira eggye lya SFC, Ssaabapoliisi, akulira okunoonyereza ku misango mu poliisi awamu ne Ssaabawolereza wa gavumenti okutwala Kakwenza mu kkooti ku Lwokusatu nga mulamu oba nga mufu ku ssaawa 4 ez’okumakya.
Naye mu ngeri etali ya bulijjo, Kakwenza aleeteddwa ku kkooti ya Buganda Road ku makya era n’avunaanibwa emisango ebiri okuli ogw’okuvvoola omuntu ng’akozesa omutimbagano, ekikontana n’akawaayiro nnamba 25 ak’etteeka lya Computer Misuse Act 2011.
“Ng’ennaku z’omwezi 24 Desemba 2021, Kakwenza Rukirabashaija bwe yali mu Kampala yakozesa omukutu gwe ogwa Twitter n’avuma n’okumalako Pulezidenti Museveni eddembe.” empaaba bw’etegeezezza.
Ono era avunaaniddwa ogusango gwe gumu ku muduumizi w’eggye ly’oku ttaka, Lt Gen Muhoozi Kainerugaba , gwe yazza wakati wa Desemba 26 ne 28,2021 era bw’atyo n’asindikibwa ku alimanda mu kkomera e Kitalya okutuuka nga January, 21 2022.
Kino kiddiridde bannamateeka, abagabi b’obuyambi ne bannakyewa okuteeka akazito ku gavumenti nga baagala ereete Kakwenza mu kkooti kuba yali asibiddwa ebbanga ddene awatali kuwozesebwa.