• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Kaggo Matovu Magandaazi akoze omukolo okwebaza Katonda: Katikkiro Akubirizza ku mutindo gw’amaka

Gambuuze by Gambuuze
May 9, 2026
in Amawulire
0 0
0
Kaggo Matovu Magandaazi akoze omukolo okwebaza Katonda: Katikkiro Akubirizza ku mutindo gw’amaka
0
SHARES
6
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Hashim Ssembusi

Naalyamagonja – Kyaddondo

Katikkiro Charles Peter Mayiga akuutidde abakulembeze bonna mu Bwakabaka ku mitendera egy’enjawulo okukubiriza abantu okusitula omutindo gw’embeera z’amaka gaabwe naddala nga essira baliteeka ku buyonjo.

Katikkiro okwogera bino abadde ku mukolo Omwami w’Essaza Kyaddondo Kaggo Owek. Ahmed Magandaazi Matovu kwe yebalizza Katonda olw’ebyo by’amusobozesezza okukola wamu n’okuggulawo enju ye empya gy’azimbye e Naalyamagonja mu ggombolola Nangabo mu Kyaddondo.

Katikkiro ategeezeza nti mu miramwa omukaaga egya Situla Omutindo, ogw’okutaano ogukwata ku mbeera z’amaka essira liteekebwa ku buyonjo okukira embeera endala zonna. Bwatyo akubirizza Abaami ba Kabaka n’Abataka Abakulu b’Obusolya n’abakulembeze bonna mu Uganda okuteeka essira mu kukubiriza abantu ba Buganda okufaayo ku maka gaabwe nga mayonjo, nga mulimu amazzi, abaana nga basoma, nga basula bulungi n’embeera endala. banaaba tebafudde Ategeezeza nti obutafa ku mbeera z’amaka ky’ekimu ku bisinze okuvaako endwadde, abantu obutakola, n’okusaasanya ensimbi ennyingi mu malwaliro ne kizingamya enkulaakulana n’olugendo lw’okuzza Buganda ku ntikko.

Katikkiro Mayiga yebazizza Owek. Magandaazi olw’okuzimba enju eri ku mutindo ate n’afaayo okukola omukolo gw’okwebaza Katonda. Ategeezezza nti abantu bonna mu nsi bayaayanira okufuna, abalala baagala nnyo okuweebwa kyokka bangi beerabira okwebaza bye bafunye. Asiimye ekikolwa kya Kaggo okwebaza Omutonzi we, ate n’ayita n’abantu okumwebalizaako.

Kamalabyonna era yebazizza Kaggo olw’okuwaayo obudde, ensimbi, amagezi okugatta ku lugendo lw’okuzza Buganda ku ntikko, nti newankubadde alina emirimu gy’akola ku lulwe naye ate emirimu gya Kabaka agikola na bumalirivu.

Minisita wa Gavumenti ez’ebintundu mu Bwakabaka Oweek. Joseph Kawuki ayogedde ku Owek. Magandaazi nga omuntu omukozi ennyo, akkiriza okuwabulwa, omunyiikivu, omwetowaze ate nga teyefeebya ate ng’afaayo nnyo ku mirimu gya Kabaka wabula n’egigye n’agikola bulungi. Yeyanzizza Kabaka olw’okulengera omusajja ow’embala.

Supreme Mufti Sheikh Muhammad Galabuzi agamba nti Kaggo muntu akolaganika naye mu mirimu gyonna, era agamba nti obuweereza bwa Kaggo, buweereza bwa bantu obutaliimu bya bufuzi, bw’atyo amusabye obutekkanya bantu wabula b’asobola abayambe b’atasobodde abongereyo awalala.

“Katonda bw’akuwa ekyengera, ayagala naawe kikulabikireko, Kaggo Magandaazi mmwebaza olw’obuteeryako njawulo, n’akola ebyo ebigya mu kitiibwa kye” Supreme Mufti Galabuzi. Ono asanyukidde omutindo gw’enju Owek. Magandaazi gy’ataddewo.Supreme Mufti yeyanzizza Kabaka olw’okusiima n’awa Owek. Magandaazi obuvunanyizibwa okukulembera essaza Kyaddondo era amusabye okutambulira mu bigere by’abo abaamusokawo okutumbula ekifaananyi ky’essaza.

Sheikh Yasin Kiweewa, akulira dawa mu Uganda y’akulembeddemu okubuulira era akubirizza abantu okusiimanga Omutonzi olw’ebyo byaba abatuusizaako ate n’okumatira n’ebyo Katonda by’abawadde.

Kaggo Hajj Ahmed Magandaazi Matovu anyumizza olugendo lw’obulamu bwe, lw’alaze nti terubadde lwangu n’akatono, kyokka teyakkiriza mbeera yonna kumumalamu Ssuubi, yafuba okulaba ng’abaako by’awangula mu bulamu. Ategeezezza nti okwekwata ku ddiini, obugumiikiriza, obuwulize n’okwerekereza bimuyambye nnyo okubaako watuuka mu bulamu. Akubirizza abavubuka okunyiikira okukola ate n’okubeera abagumiikiriza kibayambe okutuuka ku buwanguzi bwe bayaayanira.

Omubaka omukyala owa District y’e Wakiso Betty Ethel Naluyima yebaziza nnyo Kaggo Magandaazi obuweereza bwe obulungi eri Ssaabasajja Kabaka n’Obwakabaka ate n’okwerekereza n’akkiriza okukolera mu kusoomoozebwa okutuuka lw’atuuse ku maddaala ag’enjawulo mu bulamu.

Omukolo guno gwetabiddwako Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda Owek. Patrick Luwaga Mugumbule, Baminisita ba Kabaka; Owek. Joseph Kawuki, Owek. Choltilda Nakate Kikomeko, Owek. Mariam Nkalubo Mayanja, Abaami b’amasaza; Kangaawo Ronald Mulondo, Ssekiboobo Vincent Matovu, Owek. Gertrude Ssebuggwawo, Owek. John Kankaka, Owek. Charles Kiberu Kisiriiza, Abakiise mu Lukiiko lwa Buganda n’Abaami ba Kabaka ku mitendera egy’enjawulo.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.