
Bya Ssemakula John
Kisenyi – Kyaddondo
Omwami wa Kabaka amulamulirako essaza Kyadondo, Kaggo Hajji Ahmed Magandaazi afalaasidde abazadde okudda ku nkuza yabaana eggwanidde kiyambe okubasigamu empisa eggwanga lisobole okutereera.
Obubaka buno Kaggo Magandaazi abuweeredde Kisenyi mu Kampala bw’abadde ku mukolo gw’okutuuza Omwami w’Omuluka gwa Kisenyi III Eng .Hassan Ssemalemba, omumyuka we Noelina Kigongo , nabebitongole ku Lwokusatu wano mu Kampala.
Bano Kaggo Kaggo Ahmed Magandaazi Matovu abakuutidde okunyweza obumu okuweereza abantu awatali okusosola nga lwebagya okugussa obuweereza bwabwe.
Kaggo asoomozeza abazadde mu ggwanga okugunjula abaana obulungi nga babasigamu empisa nobukozi bakule nga balimu ensa.

Omwami ow’Omuluka omuggya, Eng Hassan Ssemalemba alambuludde ebimu ku bibasoomoza mu kitundu kyokka nagamba bakuluma nogwawagulu okubigonjoola
Ye Omubaka omukyala owa Kampala Shamim Malende yeebaziza Obwakabaka olw’ettofaali eddene lyebagatta mu kuzimba abakulembeze abatuukiridde era bagasa eggwanga.









