
Bya Ssemakula John
Kyaddondo
Omwami w’ essaza Kyaddondo, Kaggo Hajji Ahmed Magandaazi Matovu Ssaalongo akubirizza abantu ba Nnamunswa okwongera amaanyi mu kutaasa obutonde bw’ensi wamu n’okwagazisa emiti emito okuweereza Obwakabaka.
Bino bibadde mu bubaka bw’attise Omwami w’eggombolola Ssaabaddu Kira, Omw. Ssekalegga Frank ku mukolo gw’okutuuza Ow’omuluka Mutuba III Kikaaya mu ggombolola ya Mutuba V Kawempe mu Kyaddondo, Omukyala Nabaggala Hadijah Kateregga n’omumyuka we Omumbejja Nakayenga M.
Ye Ow’eggombolola Mutuba V Kawempe, Omw. Ntege Benon Ssempala asabye abantu b’Omuteregga okwenyigira mu nteekateeka z’Obwakabaka zonna ate n’okusomesa abaana ebikwata ku buwangwa bwabwe naddala mu kiseera kino nga buvuganya n’empisa engwira nnyingi nnyo.
Ate ye Ow’omuluka atuuziddwa Omukyala Nabaggala Hadijah Kateregga aweze okugatta abantu ba Ssaabasajja bonna, okunyweza Obumu n’okutumbula omutindo gw’obuweereza mu Muluka guno.









