Bya Jesse Lwanga
Nakifuma
Abadde omubaka w’essaza lya Nakifuma mu Palamenti, Robert Kafeero Ssekitoleko, akkiriza nga bwe yawanguddwa mu kalulu wabula ng’okugwa kwe akutadde ku banene mu kibiina b’agamba nti basussizza okweyagaliza.

Kafeero alaze okutya nti ekibiina kye ekya National Resistance Movement NRM kiri mu buzibu singa abakikulembera tebateekawo mpuliziganya n’omuntu wa wansi asembayo ku kyalo.
Ssekitoleko alumirizza nti ebintu ebirina okuyamba abantu ebiva waggulu mu kibiina bikoma mu banene era ng’eno y’ensonga lwaki abantu babasuddeyo ng’akabonero akooleka obusungu abantu bwe babalinako.
Ono asuubizza nga bwe bagenda okuddayo batuule n’abakulu mu kibiina basobole okugonjoola ekizibu kino era n’asaba abantu b’e Nakifuma okwegatta bave mu ntalo z’ebyobufuzi.
Kafeero agambye nti tagenda kuwanika era nga 2026 agenda kudda yeddize ekifo kye kuba akyali muto mu myaka.
Wabula ye Ssaabakunzi wa NRM mu ttundutundu lya Mukono omuli; Kayunga, Buikwe, Buvuma ne Mukono, Patric Mubiru akukkulumidde abalonzi olwokuva mu NRM ne balonda NUP ky’agamba nti kigenda kuzza ekitundu kino emabega.
Mubiru annyonnyodde nti emu ku nsonga lwaki Pulezidenti Museveni naye yawanguddwa mu kitundu kino lwakuba akalulu kanoonyezebwa mu ngeri ya ssaayansi ssaako n’abavubuka abaalonda mu bungi mu kitundu kino.
Wadde ekibiina kya NRM kyakoze bubi mu kitundu kino, naye bannakibiina bayisizza ebivvulu oluvannyuma lw’omuntu waabwe okuwangula Omubaka Robert Kyagulanyi ku bwapulezidenti.
Kinajjukirwa nti, ababaka bonna abaabadde ne kkaadi ya NRM mu kitundu kino, kumpi bonna baasuuliddwa nga ku bano kuliko; Johnson Muyanja Ssenyonga yawanguddwa Fred Kayondo owa DP, Hon. Ronald Kibuule yawanguddwa Munnamateeka Abdullah Kiwanuka, Hon Robert Kafeero Ssekitoleko yawaguddwa Fred Ssimbwa, Abbasi Ssozi yawaguddwa Hon Bakireke Betty Nambooze abaddeyo, ate ow’abakyala Margaret Nakavubu n’awangulwa Hanifah Nabukeera nga bonna ba kibiina kya NUP.








