Bya URN
Sipiika wa palamenti omukyala Rebecca Kadaga agambye abasawo abeegattira mu kibiina kyabwe ekya Uganda Medical Association [UMA] balina okwetonda ol’okugamba nti yakolaganye n’abafere okuleeta akadagala akawonya ekirwadde kya Coronavirus.
Ng’ayogerako eri ababaka leero, Kadaga yeewunyizza lwaki ab UMA tebaagenze mu woofiisiye nebeebuuze n’ayongera okubannyonyola ku byeyayogedde ku kadagala akano akapya akakoleddwa
Omukugu okuva mu America pulofeesa Sarfaraz K. Niaz.
Abakulira UMA okubadde Dr. Richard Idro, Dr. Muhereza Mukuzi ne Dr. Misaki Wanyengera, bagambye ekirwadde kya SARS-COV-2 ekireeta COVID19 kikyali kipya ng’era tekinnafunibwako ddaggala.
Abasawo bano baagambye nti ebigambo bya Kadaga bijja abantu ku mulamwa okubalemesa okwenyigira mu kaweefube w’okulwanyisa ekirwadde kino.
Beewunyizza lwaki Sarfaraz ayagala okutunda kadagalake wano ng’ate Uganda ekirwadde kino tekinatuukawo mu kifo ky’ewabwe mu America gyekiri okugoya abantu.
Kyokka Kadaga agamba bano aba UMA
tebaagala Bannayuganda bafune eddagala kubanga kirabika baagala kuleeta
bantu babwe.