Bya Ssemakula John
Kampala
Sipiika wa Palamenti, Rebecca Alitwala Kadaga, atabukidde ababaka enkya ya leero mu lutuula lwa Palamenti oluvannyuma lw’ababaka okugaana egimu ku misolo egisinga obungi egyateereddwa ku bintu eby’enjawulo.
Mu lutuula lwe lumu luno, Palamenti eyisizza ebbago ku nkozesa ya ttaaba erya 2021 eritadde omusolo ku ttaaba ayingizibwa munda mu ggwanga nga tannasunsulibwa. Okusinziira ku Minisita omubeezi ow’ebyenfuna, David Bahati omusolo guno gwakuyingiza mu ggwanika ssente eziwera obuwumbi 20.
Palamenti era eyisizza ennongoosereza ku ‘Tax Appeals Tribunal erya 2021 awamu n’ebbago eriteeka omusolo gwa bitundu 8 ku buli 100 ku nnuuni z’emputa, ezitwalibwa ebweru.
Ku nsonga y’ennuni, ababaka beemulugunyizza nti omuntu omu ye yaweebwa olukusa okutunda emmwanyi ebweru w’eggwanga kyokka ng’ebyenfuna byaggulwawo eri buli omu alina obusobozi.
Wano Sipiika Kadaga asabye aba minisitule y’ebyenfuna okutunula mu kwemulugunya kw’ababaka kuba kulimu eggumba. Wabula Sipiika Kadaga atabukidde ababaka ababadde beemulugunya nti gavumenti esusse okubinika bannansi emisolo n’abategeeza nti be bantu be bamu abasaba gavumenti okubakolera enguudo. “Kati mwagala gavumenti ssente eziggye wa?, Kadaga bw’abuuzizza.
Ababaka era batadde omusolo ku ng’aano, kasooli awamu ne ppamba atundibwa ebweru.
Bino we bijjidde nga Palamenti yaakamala okuyisa omusolo gwa bitundu 12 ku buli 100 ku ‘data’ agulibwa abantu abakozesa omutimbagano oluvannyuma lw’okuggyawo omusolo gwa OTT.