Bya Ssemakula John
Kampala
Omusumba era omu ku beegwanyiza obwapulezidenti bwa Uganda mu kalulu ka 2021, Joseph Kabuleta, ategeezezza nga bw’agenda okulaba ng’ateekawo obwenkanya mu byenfuna, bannansi basobole okubaako akasente ke bateeka mu nsawo.
Kabuleeta agambye nti ekimu ku bintu ebyamukase okwesimbawo kwe kuba nti ebyobugagga bya Uganda teganyula abantu balubatu so si bannansi bonna.
Ono ategeezezza nti kyenkana bannayuganda baafuuka baddu era nga kino kye kimuleese okulaba ng’a banunula mu lutalo lw’ebyenfuna.
“Omulamwa ng’enda kuguteeka ku bintu bya nsimbi, ebyenfuna n’ebintu ebiringa ebyo. Tuzze wano okulwanyisa bwavu era ng’eno y’ensonga lwaki tuli wano,” Kabuleta bw’annyonnyodde.
Ono alaze nga bwekiri ekizibu okwawula okwenunula mu by’enfuna ku kununula eggwanga kubanga bino bitambulira wamu mu ngeri ya ggi n’enkoko.
Omusumba Kabuleta annyonnyodde nti kigenderere gavumenti okukuumira abantu mu bwavu kubanga ekimanyi nti abantu abaavu, bangu okufuga. Kabuleta agamba nti eno y’ensonga lwaki omukulembeze aliko asobodde okubakulembera okumala emyaka 35 mu nfuga etali nnungi.
Wabula bino munne bwe bakakasiddwa Fred Mwesigye, abiwakanyizza n’ategeeza nti embeera Uganda mw’eri Katonda yekka y’asobola okuginunula era ono n’asaba bannayuganda okwekwata Katonda okusobola okwetaasa ku mbeera.