
Bya Ssemakula John
Lubiri – Mmengo
Olubiri lwa Kabaka olw’ e Mmengo mu Kyaddondo okubadde lukubyeko Nnamungi w’ omuntu luwuumye nga Ssaabasajja Kanaka Ronald Muwenda Mutebi asimbula emisinde egikulembera okujaguza amazaalibwa ge egy’ omwaka 2025.
Wadde enkuba ekedde kufudemba naye kino tekiremesezza bantu ba Kanaka kwetaba mu misinde gino egibadde mu Kiromita ez’ enjawulo.
Omutanda atuuse ku ssaawa emu ne ddakiika musanvu olwo essanyu, emizira n’ enduulu nebisaanikira olubiri lwonna ng’ abantu basanyuka olw’ okulaba ku Mpologoma.
Nnyinimu ayaniriziddwa Kamalabyona Charles Peter Mayiga neba minisita bakabaka abalala.

Omutanda egenze butereevu naalambula awamu nokuwuubira ku bantu be ababadde bamundiridde nebafa esanyu.
Maasomoogi oluvanyuma alamusizza ku Nnaalinnya Lubuga Agnes Nabaloga,omulangira David Kintu Wasajja,omulangira Crispin Kiweewa Jjunju era nakkalira ku Nnamulondo .
Omuteregga asiimye abavugirizi ebenjawulo okubadde Airtel Uganda,I&M bank nablala olw’okuwagira enteekateeka z’obwakabaka.
Mu bubaka bwe obusomeddwa Katikkiro, Ssaabasajja Kabaka asabye abantube kussa ekiragiro kye eky’okulwanyisa mukenenya munkola kubanga Buganda eyagala abantu abalamu okudda ku ntikko.
Ku lulwe, Kamalabyona yeebaziza bonna abeetabye mu kaweefube w’okulwanyisa mukenenya nga beetaba mu misinde gy’amazaalibwa ga Kabaka naakakasa nti kino kiraga nti obumu bwongedde okudda mu Buganda.
Katikkiro era yeebazizza abavujirizi ab’ enjawulo olw’ okuwagira enteekateeka z’obwakabaka.
Minisita omubeezi ow’Abavubuka n’ baana n’abavubuka mu gavumenti ewakati, Dr. Balaam Barugahara yeyanzizza omutanda olw’okukwatiza ku gavumenti natumbula eby’obulamu ku mitendera egyenjawulo mukwagala okuyitirivu.
Akulira Uganda Aids Commission, Dr. Ruth Ssenyonyi ategeezezza nti enteekateeka z’ Obuganda ziyambye nnyo okukendeeza ku kusaasaana kw’ akawuka kano bwatyo naasaba abantu okusigala ku omulamwa.

Bannabyabufuzi abeetabye mu misinde gy’amazaalibwa nga bakulembeddwamu Ssentebe w’akabondo kababaka abava mu Buganda Muhammad Muwanga Kivumbi beeyanziza Ssaabasajja kabaka olwokutandikawo emisinde egyekirubirirwa ekiringu eri abantube.
Emisinde gy’amazaalibwa ga kabaka 2025 gitambulidde ku mulamwa ogugamba nti’’abasajja tubeere basaale mu kutaasa omwana omuwala.
Gino gyetabiddwamu baminisita okuli; Omumyuka Asooka owa Katikkiro, Owek. Prof Twaha Kaawaase Kigongo,omumyuka owookubiri owa katikkiro, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa,minisita w’abavubuka emizannyo n’ebitone owek. Ssaalongo Robert Sserwanga nabalala.