• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Agafa e Mengo

 Abavubuka  batonedde Ssaabasajja Kabaka ebirabo mu kujaguza emyaka 70

Gambuuze by Gambuuze
April 11, 2025
in Agafa e Mengo
0 0
0
 Abavubuka  batonedde Ssaabasajja Kabaka ebirabo mu kujaguza emyaka 70
0
SHARES
17
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya  Shafik Miiro

Lubiri – Mmengo

Abavubuka mu Buganda abegattira mu bibiina ebyenjawulo bawaddeyo ebirabo eri Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II okumwebaza olw’ obukulembeze obulungi n’okumuyozaayoza olw’okutuuka ku kkula lino.

Bw’abadde abatikkula ebirabo bino ebigenda okufuuka Amakula mu Lubiri e Mmengo ku Lwokutaano, Katikkiro Charles Peter Mayiga bano abajjukiza obukulu bwa Kabaka Mutebi II okukwata omulembe gwe n’aguwa abavubuka.

“Engeri yokka  Abavubuka gyebasobola okumwebazaamu olw’okubawa omulembe gwe kwe kutuukirizza obuvunanyizibwa bwabwe, ku buli mutendera, okutegeera ensonga ssemasonga ettaano, okubanguka mu mirimu n’okugikola n’obukugu, okwekuuma mukenenya n’okuyingira obufumbo mu kiseera ekituufu” Katikkiro Mayiga bw’ategeezezza.

Owek. Mayiga agamba nti abavubuka be batambulizibwako enkulaakulana y’Ensi era y’ensonga lwaki Obwakabaka bubasoowaza nnyo nga nemu lusirika lw’abakylembeze mu Bwakabaka olw’akakomekkweezebwa bano be baateereddwako essira.

Abasabye okufaayo ku bulamu bwabwe ate n’okubeera n’obuvunanyizibwa mu bye bakola. Mu mbeera y’emu, yeebazizza enteekateeka y’abavubuka okuleeta amakula era asazeewo ebeerengawo buli mwaka.

Minisita w’Abavubuka mu Buganda,  Owek. Robert Serwanga naye yeebazizza abavubuka olw’okujjumbira enteekateeka eno ate nga ekoleddwa mulundi gwayo gusoose.

Owek. Sserwanga akalaatidde abavubuka okufaayo ennyo ku kukola, batandikewo emirimu kibayambe okuyingiza ensimbi beekulaakulanye era babeere n’ensimbi mu nsawo. Bano abakuutidde n’okwongera okwenyigira mu nteekateeka z’Obwakabaka ng’akinoganya nti ebiseera bya Buganda ebyomumaaso byesigamye ku bavubuka.

Ssentebe w’Abavubuka mu Buganda, Omuk. Baker Ssejjengo yeebazizza nnyo Gavumenti ya Beene olw’okusoosoowanga abavubuka mu nteekateeka ez’enjawulo.

Omuk. Ssejjengo asuubizza kulw’ abavubuka nti tebajja kumutiirira mu mbeera zonna bajja kulwanirira ekitiibwa kya Nnamulondo nga n’enteekateeka eno ey’amakula y’emu ku nsonga ezikakasa kino.

Ono naye yeebaziza abavubuka bakulembera olw’ombumalirivu mu kuweereza Kabaka.

Abavubuka bano baleese ebirabo eby’enjawulo omuli ente, embuzi, emmere n’ebintu ebikalu ebirala bingi.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist