Bya Ndugwa Francis
Bulange
Katikkiro Charles Peter Mayiga, ategeezezza Obuganda nga Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi bwali omulamu era nga tanaweebwa ku kitanda nga bwebizze bifulumira ku mitimbagano.
Bino Katikikiro yabitegeezezza bannamawulire leero ku Mmande e Bulange – Mmengo.
“Nzizze wano okutegeeza Obuganda ne bannange bano nti, Ssaabasajja Kabaka tali ku kitanda era gyali alamula, bwenali njogerako eri Obuganda nawa abantu amagezi okwewala amawulire agatali matongole,” Katikkiro Mayiga bweyategeezezza.
Katikkiro Mayiga yanyonyodde nti abantu bangi babadde mukutya n’okwelarikirira nga tebamanyi kiki kiddako olw’amawulire gano.
Mayiga yasabye abantu bulijjo okwewala amawulire agatali matongole agafulumira naddala ku mitimbagano kubanga emirundi mingi abagafulumya baba bagenderera kutabula n’okufuna abagoberezi ku mikutu gyabwe wamu ne ssente.
Kamalabyonna yanyonyodde nga ennaku zino abantu bwebatava ku mitimbagano era nga bagitwala nga milimu basobole okufuna ssente ate nga waliwo n’abantu abatayagala Buganda kutebenkera.
“Bwenali njogera mu muzigo ku mulundi ogwo, nalabula abantu ba Buganda obutagendera ku byogera abo abatava ku mitimbagano naddala abatalina mirimu, abafere n’abanywi b’enjaga bonna awamu abo mbetera okuyita ba Molodokaayi Nkuube,” Mayiga bweyagasseeko.
Ono awadde abantu bonna amagezi okugoberera emikutu emitongole okuli olupapula luno olwa ‘Gambuuze’, leediyo ya CBS ne BBS Terefayina.
Yagumizza abantu ba Buganda okumanya nti Nnyinimu gyali atudde ntende era alamula Obuganda.