Musasi waffe
Omulangira David Kintu Wassajja agambye nti Ssaabasajja Kabaka tasobola kukolera bantu be ebyo byonna byeyandyagadde okubakolera ng’ebintubye bikyali mu buwambe. Nga ayogerera ku Bulange ku mukolo ogw’okusiima amaggombolola agasinze okutwala Amakula mu Lubiri, Wasajja yagambye nti abazzaawo Obwakabaka bazzaawo buvunanyizibwa wabula si makubo Obwakabaka mwebwajjanga essente ezabusobozesanga okukola ku biruma abantu ba Kabaka. “Edda Ssaabasajja yalina weyali atoola nga wanene okulabirira abantu be naye ebintu byaffe bikyali mu buwambe era Ssaabasajja tagumidde nga bajjajjaffe bwebaali bakitegese asanyukire munsi ye,” Wasajja bweyategeezezza. Yasiimye nnyo abaami ab’enjawulo olw’okukuuma ennono y’okulabirira Ssaabasajja, n’agamba nti ogwo, gwe mwoyo gwa Buganda ogutafa. “Amaanyi ga Ssaabasajja gava mu mwe. Waliwo Obwakabaka bungi wano mu Uganda naye tebulina maanyi n’ambavu. Omulimu gwetuliko gwa kuzimba era omutindo gwetutuuseeko gwa waggulu nnyo. Ssaabasajja bwaba tafunye maanyi bulungi n’ebintu byaba akola bibaako webikoma,” Wasajja bweyagambye.
Kululwe, Minisita avunanyizibwa ku Buwangwa, Obulambuzi n’embiri, David Kyewalabye Male naye yasiimye nnyo abaami abenyigidde mu mulimu gw’okukunganya Amakula n’agamba nti ke kabonero akali ebweru akalaga nti okubeerawo kwa Kabaka Abaganda bakusobola. “Waliwo eyagamba nga bazzaawo Obwakabaka nti tubaddizze Kabaka ataliiko kyalina ajja kubakaluubirira bamwegobere naye abaami bano baswazizza oyo eyayogera ebyo kubanga Kabaka bamuyimirizzaawo era beetefuteefu okulaba nga embeera yonna Kabaka gyayitamu nabo bagiyitamu,” Kyewalabye bweyategeezezza.
Yagambye nti akimanyi okukunganya Amakula simulimu mwangu kubanga emirimu gya Kabaka beebinika myebinike. “Olw’okuba muli baamaanyi, mmwe mugyetikka. Buli ggombolola ejja wano ejja n’ente era ekiraalo kya Kabaka mweziri. Kino kimusobozesa okuyimirizaawo ebintu eby’enjawulo n’omuwanika w’enkuluze n’akendeeza ku nsaasanya kubanga Buganda tewa misolo,” Kyewalabye bweyagambye.