Bya Francis Ndugwa
Bulange – Mmengo
Obwakabaka bwa Buganda butegeezezza nga Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II bwatali mulwadde muyi wadde okubeera ku ndiri ng’abamu bwebabadde babijweteka.
Bino biteereddwa mu kiwandiiko ekivudde embuga oluvannyuma lw’ensisinkano ey’enjawulo wakati wa Katikkiro Charles Peter Mayiga, Omulangira David Kintu Wasajja n’akakiiko akafuzi ak’olukiiko lw’ Abataka ng’eno eyindidde mu Bulange e Mmengo ku Lwokubiri.
Ekiwandiiko kinnyonnyodde nti Omutanda yeetaaga ekiseera ekigere okwongera okuwummulamu ng’ali mu mikono gy’ abasawo okusobola okusukkira ddala obulungi.
Abakulu bano basabye Obuganda okwongera okuweereza Beene essaala era nebabasaba okukimanya nti ensonga z’obulamu bwa Ccuucu zikolebwako bulungi era mu ngeri ey’ekikugu.
Bano basabiddwa okwegendereza amawulire kubanga amawulire amatongole agakwata ku bulamu bwa Kabaka galina kuva wa Katikkiro. Bwebatyo basabye okumanya nti Nnyinimu talingirizibwa era amawulire agamukwatako tegasobola kufulumizibwa mu ngeri etyoboola ekitiibwa kye nga Kabaka wadde eddembe lye ng’omuntu.
Wano Katikkiro, Ab’Olulyo Olulangira wamu n’Abataka Ab’Obusolya webasinzidde nebeebaza abantu abayolesezza empisa z’obugunjufu, obugumiikiriza n’obukakkamu mu kaseera kano era nebabasaba okwewala obukyayi naabo abaagala okwawulayawula n’okunafuya Obuganda.
Bano bannyonnyodde nga Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka bw’ajja okudda ku butaka ng’obudde bwe obw’okudda butuuse.
Kinajjukirwa nti Beene abadde mukosefu mu myaka egiyise ekintu ekitawaanyiza obulamu bwe wamu n’emirimu gye, okuva mu basawo abakugu wamu mu Uganda n’amawanga ag’enjawulo.
Mu March 2024, Kabaka bweyagenda okulaba abasawo abakugu e Bugirimani, baakiraba nti okufuna obuweerero obwa nnamaddala Ssaabasajja alina okumala ekiseera ng’awumuddemu era kisaanidde yeewalire ddala emirimu kubanga emirimu emingi gyegimuleetera okukoseka.
Abakugu bano baalagirira Ssaabasajja bakugu bannabwe mu ggwanga lya Namibia kubanga walungi nga asobola okuwummulirayo ng’ate bwafuna obujjanjabi.