Bya Miiro Shafik
Lubaga – Kyaddondo
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II atongozza ekkadiyizo ‘Kabaka Muteesa I Catholic Memorial Museum’ eriteekeddwa ku kitebe kya Ekelezia ekikulu e Lubaga.

“Ekkadiyizo lino ligenda kutuyamba okujjukira Ssekabaka Walugembe Mukaabya Muteesa I, ate n’ebyafaayo bye ggwanga lyaffe okutwalira awamu. Tusuubira nti ekkadiyizo linaayamba abavubuka okutegeera ebyafaayo byaffe, kibasobozese okutegeera nti eddiini tekitegeeza kutwerabiza nnono n’obuwangwa bwaffe” Kabaka Mutebi II
“Okujja kw’Obukristo mu Buganda kwaleeta enkyukakyuka nnyingi. Oluusi ebyafaayo bitaputibwa bubi, era ne byonoona ekifaananyi eky’obugunjufu bwe twali tutuseeko abeeru we bajjira” Kabaka.
Omuteregga yebazizza Ekelezia okujjukira Ssekabaka Muteesa I n’abbulwamu ekkaddiyizo ery’ebyafaayo, asiimye oky’okuggulawo ekkaddiyizo lino okuteekebwa mu nteekateeka ng’ogumu ku mikolo egy’okujaguza emyaka 100 bukya Lutikko ye Lubaga etukuzibwa.
Maasomoogi era yebazizza omugenzi Ssaabasumba Cyprian Kizito Lwanga olw’okufuna ekirowoozo ky’ekkaddiyizo ate n’okuwoma omutwe mu kuzimba ekizimbe kino we liteekeddwa. Mu ngeri y’emu yebazizza Ssaabasumba Paul Ssemogerere olw’okumaliriza ekyatandikibwa gwe yaddira mu bigere, yebazizza na buli ssekinoomu abadde mu nteekateeka eno.
Nnyinimu ategeezeza nti Obwakabaka bujja kutambulira wamu n’Ekelezia ku nsonga y’okutumbula ekkaddiyizo lino.

Obubaka bwa Kabaka busomeddwa Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro Owek. Robert Waggwa Nsibirwa akiikiridde Obwakabaka bwa Buganda ku mu kuggulawo ekkaddiyizo lino. Ku lulwe yebazizza Ekelezia olw’enkolagana ennungi n’Obwakabaka bwa Buganda naddala mu kutumbula Obuwangwa n’Ennono za Buganda, ono awadde eky’okulabirako engeri Bannaddiini gye bateeka ekitiibwa mu bikolebwa ku mikolo nga okwabya olumbe, okuwanjula n’ebirala.
Owek. Nsibirwa atenderezza engeri ekkaddiyizo gye lyawundiddwamu era agamba mukisa gwa maanyi okwongera okusomesa abantu ku byafaayo eby’enjawulo, akulisiza Abakristo olw’emyaka 100 egya Ekelezia Lutikko e Lubaga.
Ssaabasumba Paul Ssemogerere akulembeddemu omukolo gw’okuwa omukisa ekkaddiyizo lino, yebazizza Katonda abasobozesa okutuusa omulimu guno weguli, atenderezza Ssaabasumba Cyprian Kizito Lwanga olw’okufuna ekirowoozo ky’ekkaddiyizo lino. Ategeezezza nti ebiri mu kkaddiyizo lino byongera okunyweza enkolagana y’Ekelezia n’Obwakabaka eyatndikibwa Ssekabaka Edward Muteesa I bwe yayita abazungu okujja ne baleeta eddiini n’okusoma mu Uganda.
Ssaabasumba Ssemogerere yebazizza Obwakabaka olw’okuwa Ekelezia Ettaka ekiyambye okuwanirira enkulaakulana ey’amaanyi ku myaka 100 nga buli muntu ayitako mu kifo kino agattako enkulaakulana esoboka. Yebazizza Abakristo olw’okuwagira emirimu gya Ekelezia.
Ssaabasumba Paul Ssemogerere ategeezeza nti ekkaddiyizo lino lyatekeddwamu ebintu eby’enkizo bingi ebinyonnyola ebyafaayo bya Buganda n’Ekelezia era ebijja okuyamba abantu bangi okubaako bye bayiga ku bukulu bw’okussa ekitiibwa mu ddiini n’Obuwangwa.


Ekkaddiyizo lino liteekeddwamu ebintu eby’enjawulo ebikwata ku Buganda n’ebikwata ku Ekelezia n’abakulembeze ab’enjawulo ab’enjuyi zombi okuli n’ebbaluwa Kabaka Muteesa I gye yawandikkira Nnabakyala wa Bungereza Victoria okuweereza abasomesa mu Uganda omwajjira n’Abaminsani.









