London – Bungereza
Kabaka foundation (UK chapter) ejaguzza okuweza emyaka 30, omukolo gutegekeddwa ku Royal National Hotel e London mu Bungereza, okujaguza ebituukiddwako mu myaka 30 okuva Ssaabasajja Kabaka atandikawo ekitongole kino.

Ettabi lye Bungereza nalyo lijaguzza okuweza emyaka 30 oluvannyuma lw’okutandikibwawo mu Museenene wa 1996, ate ekitebe ekikulu e Kampala kyatandikibwawo mu April 1996.
Ku mukolo guno Ssaabasajja Kabaka yebazizza abo bonna abakwatiddeko ekitongole kino okutuukiriza omulamwa ogwakitandisaawo era n’asaba abantu okwongera okukwasizaako ekitongole kino okulaba nga kituusa obuweereza eri abantu. Obubaka bwa Kabaka busomeddwa Omumbejja Joan Nassolo.
Ssenkulu wa Kabaka Foundation, Omukungu Edward Kaggwa Ndagala, asinzidde Bungereza ku mukolo guno, ne yeebaza Ssaabasajja Kabaka olw’okwolesebwa kuno okutandika ekitongole kino ekikoze ennyo okubeera omuntu yenna eyetaaga okubeerwa si mu Buganda mwokka wabula ne mu bitundu bya Uganda ebitali bimu.
Agamba ensiisira z’ebyobulamu ezikolebwa zijjanjaba abantu okuva mu buli kanyomero ka Uganda, ne kaweefube w’okugaba omusaayi Ssaabasajja Kabaka gweyatongoza, omusaayi guno gwataasa obulamu bw’abantu bonna mu Uganda, bw’atyo yeebazizza Beene olwa kaweefube ono.
Omukungu Kaggwa Ndagala takomye okwo ategeezezza nti Kabaka foundation ekoze enteekateeka okukyuusa obulamu bw’abantu mu migotteko, eby’obulimi, ebyenjigiriza, eby’obulamu, era aweze eri Beene nti enteekateeka z’ekitongole kino zigenda kwongerwamu amaanyi okulaba nga ebigendererwa bye kitongole kino ebyakitandisaawo bituukirira bulungi.
Agamba ekigendererwa ekikulu mu kukola ebikujjuko by’okujaguza emyaka 30 mu matabi ag’enjawulo, kwe kumanyisa abantu ba Kabaka abali emitala wa mayanja emirimo gya Kabaka Foundation, n’okunoonya abavujjirizi abayinza okubakwasizaako naddala ku nsiisira za tubeere balamu abantu bayitiridde obungi naye ate nga balina okufuna obujjanjabi obwegasa. Ssalongo Geoffrey Kibuuka, omubaka wa Kabaka atwala e Ssaza lya UK ne Northern Ireland, yeebazizza Ssaabasajja Kabaka okutandikawo ekitongole kino okuyamba abantu abalina okusomoozebwa okw’enjawulo naddala abantu abasula mu mugotteko n’abalina endwadde ezitali zimu.

Yeebazizza abaweereza ba Kabaka foundation mu Bungereza ne Ireland abakoze omulimo okulaba nga engiri ya Kabaka foundation ebunyizibwa mu Ssaza eryo awatali kwebalira. Henry Mutumba, Ssenkulu wa Kabaka UK ne Ireland, ku lw’olukiiko lwe, beeyamye okutuusa obuweereza obutaliiko kkomo okusobola okuyamba abantu mu ngeri ez’enjawulo omuli; okusoma, obujjanjabi, okuyiga eby’obulimi, n’okufuna amazzi amayonjo.
Omubaka wa Kabaka mu Ssaza Bungereza ne Ireland omuwummuze, Oweek Ronald Muyinda Lutaaya, omukolo naye agwetabyeko.









